TOP

Kkamera gwe zaakwata ng'abba bbooda bamukutte

Added 6th December 2019

OMUSAJJA kkamera za poliisi e Mukono gwe zaakwata ng’abbye boodabooda mu bitundu by’e Nansana-Ganda akwatiddwa mu bitundu by’e Kyenjojo gy’abadde yeekukumye.

 Kkamera lwe zaakwata Musinguzi. Musinguzi ng’ali ku mpingu.

Kkamera lwe zaakwata Musinguzi. Musinguzi ng’ali ku mpingu.

Joseph Kijampola Musinguzi yadduka e Ganda gye yali abeera oluvannyuma lw'okubba bbooda ya Daudi Ssemukete.

Okukwatibwa kyaddiridde Musinguzi okwenyigira mu bubbi bwa bbooda e Kyenjojo n'abalala babiri wabula poliisi e Kyenjojo n'ebakwata n'ebaggalira.

Poliisi mu kwekenneenya yakizudde nti ye Musinguzi eyakwatibwa kkamera za poliisi mu bitundu by'e Mukono ng'abbye ppikippiki nnamba UEX 125V. Baategeezezza ekitebe ky'aba mbega ba poliisi e Kibuli ku mubbi ono.

Baamutumizza n'aleetebwa okuva e Kyenjojo okutuuka e Kibuli gye yasuze ku Lwokuna.

Ku Lwokutaano yatwaliddwa ku poliisi e Nansana omusango gye gubadde n'aggalirwa mu kaduukulu era leero asuubirwa okutwalibwa mu kkooti e Wakiso.

MUSINGUZI AKKIRIZZA OKUBBA BBOODA

Musinguzi nga yaakatuusibwa ku poliisi e Nansana, yategeezezza nti kituufu yakuba Ssemukete akatayimbwa era yali amanyi nti amusse okusinziira ku ngeri gye yakamukubamu kyokka kyamwewuunyisa okumulaba ku Bukedde TV nga mulamu.

Yagambye nti yali yeetikka migugu mu kibuga kyokka n'ayingira obubbi asobole okufuna ssente amangu.

Yategeezezza poliisi nti mu mwezi abba bbooda ezitakka wansi wa nnya. Musinguzi yakuba Ssemukete akatayimbwa nga October 3, 2019 mu bitundu by'e Nansana-Ganda n'amutwalako ppiki ye gye yali yaakagula.

Omwogezi wa Poliisi mu Kamapala n'emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza okukwatibwa kwa Musinguzi n'agamba nti babadde bakyamulondoola ate poliisi y'e Kyenjojo kwe kubategeeza nti bamukutte ku musango omulala ogw'okubba bbooda.

Onyango yagambye nti Musinguzi agenda kuvunaanibwa emisango gy'okugezaako okutta omuntu n'okubbisa eryanyi mu kkooti e Wakiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...