TOP

Minisita azzizza ab'e Gomba ku ttaka

Added 6th December 2019

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja byabwe gye baasengulwa.

 Minisita Namuganza (ku kkono) mu lukiiko n’abatuuze b’e Kitemu ne Nkwale.

Minisita Namuganza (ku kkono) mu lukiiko n’abatuuze b’e Kitemu ne Nkwale.

Abatuuze baasengulwa omugagga Peter Wasswa.

Olukiiko minisita Namuganza yalutuuzizza ku kyalo Nkwale mu Town Council y'e Kanoni mu Gomba. Abatuuze baamusindidde ennaku gye bayitamu oluvannyuma lw'okusengulwa mu bibanja byabwe n'ennyumba zaabwe ne zikoonebwa ne balumiriza RDC wa Gomba, Ruth Kashaka okwekobaana n'omugagga okubatulugunya.

Ssentebe wa Town Council y'e Kanoni, Fred Kuteesa yategeezezza minisita nti, omugagga Wasswa akozesa RDC Kashaka okutulugunya abeebibanja ate buli mukulembeze avaayo okubalwanirira nga bamussaako omusango era naye abadde aliira ku nsiko.

RDC yabadde agezaako okusaba akazindaalo abeeko by'atangaaza abatuuze ne bamukuba olube ne bamulemesa okwogera. Abatuuze baategeezezza Namuganza nti ababagga ababasengula babasibako emisango ne babasiba n'ekigendererwa ky'okutwala ebibanja byabwe.

Namuganza yakunyizza RDC Kashaka n'amugamba nti alemeddwa okukola omulimu gwe era n'ategeeza nti, agenda kumukolako lipooti agitwale ewa Pulezidenti Museveni.

Namuganza akunyizza ne DPC wa Gomba, Alfonse Musoni olw'okukwata abatuuze mu bukyamu n'okubagaana okukungula emmere mu bibanja byabwe era n'amulagira obutaddamu kukwata mutuuze ku nsonga ezeekuusa ku ttaka lino.

Abatuuze baatutte Namuganza mu maka ga Fred Luyinda bakanyama b'omugagga gye baayasa endabirwamu z'ennyumba ye n'okwonoona ebirime bye n'alagira abatuuze okukuula ebitooke omugagga bye yali yasimba mu luggya lwe era n'agamba abatuuze bonna okugenda ku poliisi baggulewo emisango ku mugagga egy'okuboonoonera ebintu.

Abatuuze basiimye eyaliko minisita ateekerateekera ebibuga Rose Mariam Najjemba okubayamba okutuusa obulumi bwabwe mu ofiisi ya minisita Namuganza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.