TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke ku by'abakyala be abaanoba

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke ku by'abakyala be abaanoba

Added 6th December 2019

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka abalala batadde omuyimbi Haruna Mubiru mu kasonda ne bamukunya olw’okulagajjalira bakyala be naddala Raudha Ssonko muwala w’omugagga Guster Lule Ntakke.

 Kitooke ng’aliko byannyonnyola Omulangira Nakibinge (ku kkono) ne Sheikh Muzaata.

Kitooke ng’aliko byannyonnyola Omulangira Nakibinge (ku kkono) ne Sheikh Muzaata.

Mukimanye twakkaanya bukkaanya agende mu Amerika era gy'abeera naye mwe muluzunza nti nayawukana naye. 

 itooke ne adija umala Kitooke ne Hadija Lumala

 

 emira ayimba naye mu ream roduction Kemira ayimba naye mu Kream Production

 

JJAJJA w'Obusiraamu, Omulangira
Kassim Nakibinge, Omulangira
Kakungulu Kalifaani,
Sheikh Nuuhu Muzaata ne
bamaseeka abalala batadde
omuyimbi Haruna Mubiru
mu kasonda ne bamukunya
olw'okulagajjalira bakyala be
naddala Raudha Ssonko muwala
w'omugagga Guster Lule
Ntakke.
Omukyala omulala ye Hadja
Lumala muwala wa Moses Lumala
eyali omuvuzi w'emmotoka
z'empaka. Nakibinge ye yayise
Haruna nti mutabani: mu kutya
okungi, Haruna yayitabye
ne yeewombeeka n'agenda
mu maaso ge era ng'alabika
ng'atidde olw'ebigenda okumubuuzibwa
wadde ate yalabise
ng'atakisuubidde nti bya
bakyala be.
Awo Nakibinge we yasabidde
aba kkamera basooke baveewo
ayogeremu ne Haruna. Baamaze
akaseera nga Haruna
bw'anyenya omutwe
ku bimugambibwa
mu ngeri
y'okwegaana
ate oluvannyuma
n'ajja
akamwenyumwenyu.
Yatambudde
ng'awerekera
ku Bamaseeka
bano buli
omu ku mmotoka ye era
bwe baagenze n'asigala awo
ng'abirowoozaamu. Yalabye
babuliddeyo n'ategeeza nti:
‘‘Ebintu byava ku mwe
bannamawulire nga mugamba
nti mukyala wange
Raudha yanoba. Mukimanye
twakkaanya bukkaanya
agende mu Amerika era
gy'abeera naye mwe muluzunza
nti nayawukana naye.
Hadja Lumala naye gy'ali''.
Kitooke yategeezezza nti
Omulangira yambuuzizza ku
Raudha oba bye yawulira
nti twayawukana bituufu ne
mutangaaza nti si bituufu
omukyala ndi naye era
nabadde mu Amerika nga
hhenze okumulabako. Jjajja
w'Obusiraamu anneebazizza
okunywerera ku bufumbo
n'okutambulira mu kifaananyi
eky'Obusiraamu.
Abaamawulire mumanye
nti nze bakyala bange sikyabalaga
bye babaako naye ate
mwe bwe muba temubalaba
nga mutandika okubatambuzaako
olugambo. Omukulu
mutegeezezza nti Raudha
mulinamu n'abaana basatu
ate Hadja mulinamu babiri.
Faridah Kitooke yagenda
atya?
Oyo namuta n'agenda
tetukyalina nkolagana wabula
sijja kumwogerako bingi
kubanga maama wa mwana
wange. Kyokka Faridah
talina kwewaana kubanga
mu vidiyo ya Kitooke
kifansalira ye yali asingamu
obulungi kubanga mwalimu
abalala ng'ekiwala ki Zuula.
Zaina lwaki naye yagenda,
towangaaza bakazi?
Ndi musajja ayagala
obulamu bwe. Ekireetera
omusajja okubeera
n'abakazi abangi kwe
kunoonya oyo amutegeera. Ate ekyawukanya
omusajja n'omukazi biba bingi naye nze
ekiyinza okunnemya omukazi busezi waakiri
awo mbeera n'omulogo. Ate okubeera
n'omulogo mbeera n'omuyombi. Bwe batyo
bwe tuweza omuwendo gw'abakazi nga
tunoonya abatuufu. Baabadde mu maka ga
Hajji Moses Katongole e Kanyanya wiiki
ewedde muwala we ng'akyaza omwami we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...