TOP

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Added 6th December 2019

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

BYA PROSSY NABABINGE

Enkoko kye kimu ku binyonyi kyenkana buli muntu kyawomerwa era nga mwattu osobolera ddala okugifumba mu ngeri ezenjawulo n'ogiwomerwa.

Omufumbi Micheal Mutale, kafulu mu kufumba akulaze bw'osobola okuteekateeka mu enkoko kawoomerwa n'oteegomba kugigula mu mawooteri nga weeyambisa  ebintu ebyangu.

 Ebyetaagisa; Enkoko y'ennyama, omunnyo, enniimu, aromat, chicken masala

EBYETAAGISA.

Enkoko, Ennimu, Chicken Masala, Aromat, Omunyo ne butto .

ENFUMBA.

Tematema enkoko ebifi by'oyagala mu sayizieyo gyosiimye, kwata ennimu ogisale era okamule amazzi g'ennimu nga gayiika bulungi.

 Kkamula enniimu wabula weewale okuteekamu obusigo

Kino oyinza okukikolera mu ngalo zo ng'oziyonjeza bulungi oba ku kasengejja era mu kukola kino, wewale okugattamu busigo.

Gitabule bulungi okulaba ng'omubisi guno guyingira bulungi mu nkoko eno era omamirireko omunyo.

 nkoko gisiike okutuusa ngemmyuuse Enkoko gisiike okutuusa ng'emmyuuse.

Mamirirako ekirungo kya "chicken masala" era okakase nga buli wamu omamirirawo kigisobozese okumyuka. Oluvanyuma giteeka mu butto ayidde wabula nga tannaba kuvaamu mukka.

Enkoko eno ogisiika okumala eddakika munana era nga mu bbanga lino egyakubeera nga eyidde ate nga ngonvu. Kyogigabulirako kiri eri gwe era nga ffe tusazeewo gigabulirako saladisi za nnyanya.

 nkoko eyidde erinze kuliibwa Enkoko eyidde erinze kuliibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...