TOP

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Added 8th December 2019

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

 Norman Musinga ne Mukyala we bwebali mukusika omuguwa

Norman Musinga ne Mukyala we bwebali mukusika omuguwa

OFIISA akulira polisi y'ebidduka mu Kampala n'emiriraano SSP Norman Musinga atabuse ne mukyala we n'amubbako abaana n'abakweka.

Eno y'entikko y'okutabuka kwa bafumbo bano, abamaze ebbanga nga balina obutategeeragana mu maka ekyawalirizza Musinga okugenda mu kkooti mu 2016 n'agisaba baawukane ne mukyala we Esther Kyinkuhaire Musinga bwe balina abaana abasatu.

Musinga bwe yagenda mu kkooti yagisaba bw'emala okubaawukanya ne mukazi we, ye nga taata emuwe obuyinza okusigaza abaana okuli; Given Atuhaire 8, Garvin Aine 6, ne Gabriella Birungi ow'emyaka esatu.

Wabula kkooti yagaana okusaba kwa Musinga n'eragira abaana basigale ne nnyaabwe mu kiseera ng'omusango gwabwe gugenda mu maaso kyokka wadde kkooti yasalawo bw'etyo, Kyinkuhaire agambye nti, bba yasooberedde abaana n'abamubbako n'abatwala mu kifo kyatamanyi.

ENGERI MUSINGA GYE YATUTTE

ABAANA Kyinkuhaire ku Lwokuna, yazze ku ofiisi za Bukedde ng'alabika yenna asobeddwa n'asaba abazirakisa bamuyambe afune abaana be. Yagambye nti, abaana baali basomera ku St. Savio Junior School e Kisubi ate omuto asembayo, ng'asomera ku Agha Khan.

Yagambye nti, emirundi mingi, Musinga abadde nga agenda ku ssomero abaana gye basomera ne kabangali ya poliisi ekubyeko abaserikale aggyeyo abaana wabula ab'essomero nga tebamuganya.

Yayongeddeko nti, wabula mu lusoma olwokubiri olw'omwaka nga luli wakati, baafiirwa omu ku booluganda. Yannyonnyodde nti, bwe baafiirwa, Musinga yakozesa olukujjukujju n'agenda ku ssomero n'alimbalimba abaliddukanya nti, abaana yabadde abakimye okugenda okuziika.

Kyinkuhaire agamba Musinga yakeera nnyo okugenda ku ssomero ye yagenda okugendayo okukima abaana nga Musinga amaze okubaggyayo era okuva olwo abaana yabatwala n'abakweka.

Yagasseeko nti, olusoma olwokusatu bwe lwatandise, Musinga yamuweerezza obubaka ku ssimu n'amugamba nti, ‘Abaana bali Kamwokya ku Homisdallen bw'oba oyagala osobola okugenda n'obalaba bw'oba toyagala kiri eri ggwe.' "Abaana baabadde banaatera okuwummula nga wabula ennaku ssatu bamalirize ebigezo n'abaggyayo ku ssomero twagenze okugendayo baatugambye nti abaana taata waabwe yabatutte wabula ennaku ssatu bawummule." Kyinkuhaire bwe yagambye.

BAMAZE EMYAKA ESATU MU KUSIKA OMUGUWA

Kyinkuhaire yagambye nti, obuzibu bwonna bwatandika mu 2016 oluvannyuma lw'okuzaala omwana asembayo, Gabriella Birungi.

Yagambye nti, olwali okuzaala, bba omwana yamwegaana n'agamba nti si wuwe era baakomekkerera bagenze ku musaayi. Yagambye nti, bba ye yalonda eddwaaliro lya Lancet Laboratories ku Buganda Road gye yatwala omwana ne babaggyako omusayi ne guweerezebwa mu America okukebera endagabutonde zaabwe bombi.

Ebyava mu musaayi biraga nti, omwana ebitundu 99.999 ku 100 wa Musinga abasawo ne bagattako nti, tewali kubuusabuusa kwonna nti Musinga ye kitaawe w'omwana. Kyinkuhaire yagambye nti, ebyo bwe byaggwa, Musinga yamutuuza n'amugamba nti, ayagala agendeko ewaabwe atwale omwana oluvannyuma akomewo e Kampala atandike okukola.

Yagambye nti, yakkiriza n'amuteeka mu mmotoka n'amuzzaayo mu bakadde be e Ssembabule nga bakkiriziganyizza nti, omwana bw'ava ku mabeere wa kukomawo amukolere bizinensi kyokka agamba nti, olwali okumutuusa, bwe yadde e Kampala, yagenda we baali bapangisa e Zzana mu Nfuufu n'asiba ebintu byonna era yasenguka kiro.

Yayongeddeko nti, bwe yali akyali e Ssembabule, gye baamutegeereza nti, bba yali agenze mu kkooti ng'ayagala baawukane mu mateeka 

Bano, baafumbiriganwa mu 2010 ku Lutikko e Namirembe ku mbaga eyali ey'ekitiibwa eyasomboola bamayinja mu poliisi abaaliwo ng'abamu ku bagenyi abayite
Yagasseeko nti, omusango Musinga gwe yatwala mu kkooti, enfunda ziweze nga bamuyita kyokka talinnyayo era gwayimriramu.
Talina budde bwabwe awaka avaayo kiro addayo mu ttumbi enviiri ne zibamera ku mitwe ne gisaakatira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba kiki ekyatuuka ku nnyum...

ABATAMBUZE abayita ku kyalo Nkuke mu ggombolola y'e Buwunga mu Masaka bebuuza ekyatuuka ku y'Ambasada era eyaliko...

Agafa ku bidduka: Laba omug...

Emmotoka ezifiira ku nguudo zeeyongedde obungi nga kigambibwa nti ekizibu kivudde ku bbanga eddene lye zaamala...

Kasuie ng’assa omukono ku ndagaano.

Musaayimuto wa SLAU yeesung...

KAPITEENI wa St. Lawrence University (SLAU) mu Pepsi University League, Ibrahim Kasule amanyiddwa nga ‘Owen Baba...

Kyambadde ng’asiba omupiira. Ku ddyo bw’afaanana kati.

Eyali ssita wa KCC ne Crane...

BULI lw’okoona ku linnya lya Ibrahim Sekaggya, Abubaker Tabula, Wilber Musika n’abalala, Willy Kyambadde ayunguka...

Ssenninde

Ssita wa Crested Cranes yee...

OMUZIBIZI wa ‘Crested Crane’ ttiimu y’eggwanga ey’omupiira mu bakazi Jean Namayega Sseninde ayabulidde Queens Park...