TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Added 8th December 2019

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

 Norman Musinga akuira ebidduka mu Kampala

Norman Musinga akuira ebidduka mu Kampala

NAJAGALA OBUKADDE 100 N'ENTE 25 TWAWUKANE

Kyinkuhaire yagambye nti, talina buzibu bwonna kwawukana na Musinga kubanga ye ky'ayagala naye n'agamba nti, alina okusooka okutuukiriza obukwakkulizo bwe.

Yagambye nti, bwe yateekayo okusaba kwe baawukane, yamuwa obukwakkulizo kwe balina okwawukanira n'amugamba nti, ayagala amuwe ssente enkalu 100,000,000/-, ente 25 agatteko n'okuweerera abaana mu masomero ag'omulembe.

Kuno agattako n'okwesigaliza abaana be b'agamba nti, tasobola kwesiga muntu yenna kukuza baana be ng'akyali mulamu. "Musinga yahhamba agenda kubimpa kyokka n'okutuusa essaawa ya leero teyenyeenya." Kyinkuhaire bwe yategeezezza

AMULOOPYE MU BAKAMA BE  

Beth Nuwahereza, muto wa Kyinkuhaire yagambye nti, baatuukiridde Dr. Stephen Kasiima dayirekita wa poliisi y'ebidduka ne beekubira omulanga ku kya Musinga okutwala abaana.

Yagambye nti, bwe baatudde ne Kasiima, yabategeezezza nti yabadde agenda kwogera ne Musinga kubanga naye muzadde era ekintu kye yakoze okubuzaawo abaana, kya bumenyi bwa mateeka era kiyinza okumufiiriza omulimu gwe.

Ono yasabye minisita Nakiwala Kiyingi akola ku nsonga z'abaana amuyambe ayingire mu nsonga ze addizibwe abaana be kubanga omu ku baana, yatuuka n'okuggya omuliro ku kisambi ng'ali mu mikono gya Musinga.

Yagasseeko nti, embeera abaana gye babeeramu mbi, Musinga talina budde bwabwe awaka avaayo kiro addayo mu ttumbi enviiri ne zibamera ku mitwe ne gisaakatira.

Beth Nuwahereza, muto wa Kyinkuhaire yagambye nti, baatuukiridde Dr. Stephen Kasiima dayirekita wa poliisi y’ebidduka ne beekubira omulanga ku kya Musinga okutwala abaana. Yagambye nti, bwe baatudde ne Kasiima, yabategeezezza nti yabadde agenda kwogera ne Musinga kubanga naye muzadde era ekintu kye yakoze okubuzaawo abaana, kya bumenyi bwa mateeka era kiyinza okumufiiriza omulimu gwe. Ono yasabye minisita Nakiwala Kiyingi akola ku nsonga z’abaana amuyambe ayingire mu nsonga ze addizibwe abaana be kubanga omu ku baana, yatuuka n’okuggya omuliro ku kisambi ng’ali mu mikono gya Musinga. Yagasseeko nti, embeera abaana gye babeeramu mbi, Musinga talina budde bwabwe awaka avaayo kiro addayo mu ttumbi enviiri ne zibamera ku mitwe ne gisaakatira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...