TOP

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw'amayumba

Added 8th December 2019

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

 Joseph Kasasira omu ku bassentebe abeetabye mu musomo ogwategekeddwa KCCA ku musolo gw’amayumba ng’annyonnyola bye bayitamu.

Joseph Kasasira omu ku bassentebe abeetabye mu musomo ogwategekeddwa KCCA ku musolo gw’amayumba ng’annyonnyola bye bayitamu.

PULEZIDENTI Museveni ayimirizza omusolo gw'amayumba ogumaze ebbanga nga gwogeza abantu naddala bannannyini mayumba ebisongovu. Ekiragiro ekiwera omusolo guno yakiyisizza mu bbaluwa gye yawandiikidde minisita wa gavumenti ez'ebitundu, Tom Butime ng'amulagira okuguyimiriza.

Ebbaluwa yagiwandiise nga November 28, 2019. Mu bbaluwa, Pulezidenti yategeezezza nti azze afuna amawulire nti disitulikiti zibadde zisolooza omusolo gw'ebizimbe bino mu bubuga obutali bumu gwa bitundu 8 ku buli 100 n'agamba nti kino kirina okukoma mbagirawo kuba abantu abalina ebizimbe ebipangisibwa bakyali batono ddala era basaana okuweebwa omukisa okulekebwa bakulaakulanye bizinensi zaabwe awatali kutaataganyizibwa.

Yagambye nti balina okulinda waakiri ekitundu ekyo ne kikulaakulana okutuuka ku mutindo gwa Town Council oba Munisipaali olwo eby'omusolo guno biryoke birowoozebweko.

Yalabudde ne minisitule ya gavumenti ezeebitundu okukendeeza ku kupapirira okutondawo Town councils ne Munisipalite ennyingi nti zijja kuba nzibu okuziyimirizaawo.

Yawabudde nti ensimbi entono eziriwo kazikozesebwe ku bintu ebikwata ku bantu obutereevu omuli enguudo, amasannyalaze, amasomero n'amalwaliro. Yalabudde ababadde basolooza omusolo guno okukikomya mbagirawo okwewala okukaluubiriza Bannayuganda abali mu lutalo lw'okweggya mu bwavu ate okubazza mu misolo egitaliimu.

Ebbaluwa yagiweerezzaako omumyuka wa Pulezidenti, Sipiika wa Palamenti, Ssaabaminisita, baminisita, ababaka ba palamenti ne bassentebe ba disitulikiti. Ekiragiro kya Pulezidenti okuyimiriza omusolo we kijjidde ng'abantu bangi beemulugunya ku musolo guno olw'obutagutegeera n'okubanyigiriza.

Abaasembyeyo baabadde batuuze ba mu muluka gw'e Kansanga mu Munisipaali y'e Makindye wano mu Kampala.

Baavudde mu mbeera ne batabukira bakkansala baabwe ababakiikirira mu KCCA okwabadde Stephen Mugagga owa Kansanga B ne Diriisa Tebandeke owa Kansanga A nga balumiriza okwetumiikiriza okuyisa ennongoosereza mu tteeka erikwata ku musolo gw'amayumba nga tebabeebuuzizzaako.

Baabadde mu musomo ogwakoleddwa ekitongole kya KCCA okubasomesa ku musolo gw'aymaumba gwe baludde nga beemulugunyaako nti gubanyigiriza.

Abatuuze bagamba nti KCCA yabagerekera omusolo menene ogw'ebitundu 6 ku buli 100 nga bagamba abakulembeze baabwe be baasindika mu KCCA baali bateekwa okusooka okuddayo okubeebuuzaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...