TOP

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe

Added 8th December 2019

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe

 Mulwanyammuli (wakati), Ssemogerere (ku ddyo), Godfrey Kigobero owa Bukedde (owookubiri ku kkono) n’abalala mu ttabamiruka w’Olugave.

Mulwanyammuli (wakati), Ssemogerere (ku ddyo), Godfrey Kigobero owa Bukedde (owookubiri ku kkono) n’abalala mu ttabamiruka w’Olugave.

EKIRAGIRO kya Kabaka ku kulambula obutaka bw'ebika kivuddeko ab'Olugave okunoonya ensimbi obukadde 100 okugaziya n'okununula ekitundu ku butaka bwabwe e Katende mu ssaza ly'e Mawokota.

Obutaka bw'ekika kino e Katende bwatundwa mu myaka gya 1980. Baalonze katikkiro wa Buganda eyawummula, Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere okubeera ssentebe w'olukiiko olw'okununula obutaka bw'ekika kino.

"Kabaka yawa ekiragiro eri ebika byonna okweteekerateekeraokulambula kwe ku buli butaka naye gunaabeera gutya ng'atuuse okulambula ekika kyaffe nga tetulina we tumutwala!

Twagala okusinziira ku ekyo okwongera okugaziya obutaka bwaffe," Mulwanyammuli bwe yategeezezza. Bino yabyogeredde ku Pope Paul Hotel e Ndeeba mu ttabamiruka w'ekika ky'Ougave nga December 4, 2019.

Yasabye banne okwenyigira mu kaweefube w'okusonda ensimbi okugaziya e Katende. "Twafunye omuntu okuliraana obutaka bwaffe eyatuwadde omukisa okugulawo era yeetaaga obukadde 30 ze tulina okumuwa mu bwangu.

Nkubiriza buli yeddira Olugave okuvaayo okwenyigira mu kaweefube w'okusonda ensimbi ate n'amasiga geekolemu omulimu," Mulwanyammuli bwe yagasseeko.

Omutaka Fred Katende akiikiridde omukulu w'ekika kino, Grace Ssemakula Nduggwa okukola emirimu gy'ekika, yategeezezza nti ekika kyabwe kiri mu kusomoozebwa ng'ate kirina abantu abanene bangi nga ssinga bakwatira wamu basobola okuzza olugave ku ntikko mu bwangu.

Ettaka litwetaagisa obukadde 100 ze tulina okusondera awamu ate bwe tumala tuteekeko enkulaakulana endala" Katende bwe yategeezezza. Baasonze ensimbi obukadde 23 okutandika ku kaweefube ono.

Munnamateeka John Katende eyabadde omugenyi omukulu yabawadde obukadde 2. Baategese n'ekivvulu ku Theatre Labonita nga December 12,2 019 okwongera okusonda ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...