TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Lwengo basattira lwa bubbi bw'ebisolo n'emmere

Ab'e Lwengo basattira lwa bubbi bw'ebisolo n'emmere

Added 8th December 2019

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

ABATUUZE okuva ku byalo bitaano okuli Kisaanabataka, Kijjaaba, Kakoma, Kibimba A ne Kibimba B mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo basattira olw'obubbi bw'ebisolo n'emmere obweyongedde mu kitundu kyabwe ebyolekedde okubateeka mu njala n'okubattisa.

Ebisolo okuli embizzi, enkoko, embuzi n'ente ababbi babigguddeko olutalo nga mu bbanga lya mwezi gumu ensolo ezaakababbibwako zisukka mu 200 nga zino ababbi bamenya amayumba mu matumbibudde ne bazitikka ku mmotoka awatali abakuba ku mukono.

Ate ebirime okuli amatooke ne muwogo, abatuuze baagambye nti ababbi bajula kubasanga ne mu nnimiro nga bakyalima babbe naddala amatooke ng'enkota eziri mu 700 ze zaakatemebwa mu wiiki emu yokka.

Bagattako nti ekizibu ekirala kye balina bwe bulogo obususse ng'ensuku abasezi bazisera ekyongedde okubeeraliikiriza. Kino bakitadde ku bassentebe b'ebyalo ne poliisi y'e Kakombe balumiriza obutabayamba olw'ababbi abakwatibwa lubona ne batwalibwa ku poliisi kyokka ne bayimbulwa.

Ssentebe w'eggombolola y'e Kyazanga, Musa Kayondo Bahati Kisanja asinzidde mu lukiiko lw'ebyokwerinda n'agugumbula bassentebe b'ebyalo okukomya okuwa obujulizi ku bantu ababa bakwatiddwa mu kikolwa bwe baba baagala okukulembera abantu abaabassaamu obwesige.

"Ssentebe omulamba ow'ekyalo n'omusanga ng'ajjulira omubbi, oba omutemu gwe tukubalire mu babbi oba batemu? Mukole emirimu gyamwe egyabalondesa okusinga okuyingirira poliisi," Ssentebe Bahati Kayondo bwe yategeezezza.

Mu ngeri yeemu akuutidde bassentebe okugobanga abaakakiiko abalemeddwa okukola emirimu gyabwe omuli n'abo abaziimuula enkiiko z'ebyalo balonde abalala abasobola okukola.

Kayondo asabye abatuuze okunyweza eby'okwerinda nga baviira ddala mu maka gaabwe naddala mu nnaku enkulu ze tugendamu okusinga eby'obugagga byabwe okubitunuzanga mu poliisi okubikuuma ne yennyamira olw'amaka agamu ge yayise agatunuulibwako kyokka nga tegaliimu yadde ejjambiya ng'ekyokulwanyisa ekiteekeddwa okuba mu maka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...