TOP

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Added 8th December 2019

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga yawuubyeko ekigere ewa Gabunga Mubiru Zziikwa e Kabowa okumubuuzako n'okumutwalira Ssekukulu.

Yamutwalidde abazzukulu abapya ne baweebwa amaanya g'ekika ky'Emmamba. Kwabaddeko Herman Schutten okuva mu Germany eyatutte erya Kizito, Andrea Duharova yafunye lya Namutebi ne Olga Mutnanska n'atwala erya Namiiro nga bava mu Slovakia.

Yawerekeddwaako abamu ku basaserodooti okwabadde Fr. Joseph Nsubuga, Fr. Victor Mubiru, eyaliko Katikkiro w'ekika kino, Dr Adam Kimara Mubiru, Fr. Francis Ssengendo, Fr. Banabas Magezi okuva mu ssaza lya Masaka n'abalala.

Gabunga yasanyukidde abazzukulu abapya n'asiima Ssaabasumba olw'emirimu emirungi gy'akoledde eggwanga n'ekika ky'e Mmamba. "Ssebo Ssaabasumba tukwebaza olw'emirimu emirungi gy'okola n'obutasulirira kika kyo.Tokoma okwo n'owabula n'okujjumbira buli kimu ekibeerawo, tukwenyumiririzaamu nnyo," Gabunga bwe yategezezza.

Yabakubirizza okusigala nga bali omuntu omu baagale Obuganda n'okubuZza ku ntikko. Dr Kimala yayanjulidde Gabunga ekirowoozo kya Ssaabsaumba eky'okwongera okukulaakulanya ekika kyabwe mu pulojekiti ya Gabunga Development Trust mwe banaayita okulongoosa, okukulaakulanya n'okugaziya enju ya Gabunga.

"Ssebo jjaajja ffe Ggabunga, Ssaabasumba yasuubizza okwongera okutambulira awamu naffe okulaba nga emirimu gy'ekika jongera okugenda mu maaso," Dr. Kimala bwe yayanjudde ekiwandiiko kya Ssaabasumba mu maaso nga Gabunga. Oluvannyuma baawadde Gabunga ebirabo omwabadde amatooke, embuzi n'ebintu ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...