TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita eyasuulawo omukyala w'abaana 6 bamukase okui

Paasita eyasuulawo omukyala w'abaana 6 bamukase okui

Added 9th December 2019

PAASITA eyasuulawo amaka ge ne yeegaana abaana be omukaaga, minisita amuwaliriza okubakebeza endagabutonde.

 Attunka na paasita eyeegaana abaana Kisakye maama n’abaana be Joshua ne Justine. Wansi mu katono ye Salamuka

Attunka na paasita eyeegaana abaana Kisakye maama n’abaana be Joshua ne Justine. Wansi mu katono ye Salamuka

Pr. James Herbert Salamuka ow'ekkanisa ya Power of Christ Ministries International esangibwa Masajja mu Kibira B Kazinga yasabiddwa Minisita w'abavubuka n'abaana Florence Nakiwala Kiyingi okukebeza abaana bonna okuzuula ekituufu oba ddala si babe nga bwe yasooka okutegeeza.

Salamuka kigambibwa nti yafunamu obutakkaanya ne mukyala we, Sarah Kisakye n'atuuka n'okuva mu maka ge n'agenda kyokka nti ekyo tekyamumalira mukyala we bwe yamwesibako ku ky'okulabirira abaana n'amutegeeza nti abaana baamukandira obuyambi si babe ekintu ekyavaako mukyala we okwekubira enduulu mu bamateeka okulaba ng'abaana be bafuna obuyambi obusaanidde okuweebwa.

Kisakye yategeezezza nti ensonga zino yasooka kuzitwala ku poliisi e Katwe wabula nti bwe yalaba nga poliisi ekikwata kasoobo n'asalawo okweyongerayo mu bitongole by'amateeka ebisobola okumuyamba, nga kuno kwaliko, aba Legal Aid Project abayamba okukwasisa amateeka ssaako ne wa Minisita Nakiwala.

Yagambye nti bwe yagenda ewa Minisita Nakiwala, yasalawo okuwandiika ebbaluwa eyita bba yennyonnyoleko ku byali bimwogeddwaako nti kyokka bwe batuuka mu ofiisi, Nakiwala n'asaba Salamuka okutwala abaana bonna ku musaayi basobole okumalawo endoolito z'okubeegaana nti si babe.

Yagasseeko nti Salamuka mu kusooka kino yakikkiriza wabula oluvannyuma lw'okugenda e Wandegeya okumanya omuwendo gwa buli mwana yazuula nga ssente ezigenda okumugibwaako ku baana bonna nnyingi kwe kusalawo okuddukira mu kitongole kya Legal Aid e Ntinda n'akisaba okumukkiriza akebeze omwana omu.

Wabula nti nabo bamusaba agenda wa Minisita amukkirize okukebeerako abaana babiri be yali asinga okwekengera.

Kisakye yagambye nti amaze ebbanga ng'asaba bba okutuukiriza kye yeeyama mu maaso ga minisita n'ategeeza nti aliko n'endagano gye yakolera mu maaso ga Minisita ey'okuwa obuyambi abaana be bwa mitwala 96 era nti mu kakwakkulizo ke yateeka mu ndagano eno ke k'okumuliyirira singa abaana bano ebiva mu musaayi bivaayo nga si babe, Kisakye kye yagambye nti yakikiriza.

Oluvannyuma abaana Joshua Salamuka 7 ne Justine Salamuka 12 baatwaliddwa ku musaayi e Wandegeya.

Kisakye wabula yagambye nti abasawo baabagambye nti ebinaava mu musaayi si byakubaweebwa, wabula baakubitwala butereevu ewa Minisita Nakiwala bategeezebwa ebinaaba bivuddemu. #

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...