TOP

Basse omulaalo ne bamuziika ne banyaga ente

Added 9th December 2019

ABATEMU balumbye amaka g’omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala mu disitulikiti y’e Wakiso ne bamutuga, omulambo ne bagutemaatema oluvannyuma ne baguziika! Amangu ago baakung’anyizza ente zonna ze yabadde alunda - 25, endiga nnya n’embuzi ne bagenda nabyo.

 Ente ezaabadde zibbiddwa nga zikomezeddwaawo. Mu katono ye Nalukwago

Ente ezaabadde zibbiddwa nga zikomezeddwaawo. Mu katono ye Nalukwago

ABATEMU balumbye amaka g'omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala mu disitulikiti y'e Wakiso ne bamutuga, omulambo ne bagutemaatema oluvannyuma ne baguziika! Amangu ago baakung'anyizza ente zonna ze yabadde alunda - 25, endiga nnya n'embuzi ne bagenda nabyo.

Ettemu lino lyakoleddwa mu maka ga Simon Ssekayi omutuuze w'e Kitovu-Nakigala e Kajjansi era omulaalo eyattiddwa ye Onesimas Kamugisha.

Omusuubuzi yeekubidde enduulu ku poliisi ng'aloopa okubula lw'ente ze n'okubulawo kw'omulaalo we era poliisi n'etandika omuyiggo n'okusuula emisanvu. Ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde, poliisi y'e Nsangi yakutte abasajja babiri okwali Isaac Odema ne Kamu Kajo nga baasangiddwa n'ente ezisoba mu 24 n'endiga 4 kyokka nga tebalina biwandiiko bibakkiriza kuzitambuza.

Yabakunyizza buli omu n'alumiriza munne okutta Kamugisha omulambo gwe ne baguziika ku lusozi lw'e Nakigalala e Kajjansi. Baatutte poliisi we baziise omulambo gwa Kamugisha nga gwasangiddwa nga gutemeddwa ebiwundu eby'amaanyi ku mutwe era ne gutwalibwa mu ggwanika ly'eddwaaliro ly'e Mulago.

Ente Odema ne Kajo ze baabakutte nazo bazisanga baazikubye emiggo nga baakikola okugezaako okuzikaka okutambula wabula nga zaali zikooye era zaali ziwummulidde mu maka g'omutuuze omu e Nsangi eno y'ensonga lwaki poliisi yabeekengera n'ebakwata.

Sarah Nalukwago, mukyala wa Ssekayi yategeezezza nti Kamugisha yakeera kutwala nte ku ttale nga bulijjo bwe yali akola kyokka obudde bwawungeeera okutuuka ku ssaawa 12 ze yali atera okukomerawo ez'olweggulo nga Kamugisha n'ente tebalabikako ne balowooza nti oba alina gy'asoose okugendako.

Nalukwago yagambye nti abatuuze babategeezezza nti nga bwe baali bawulidde ekizindaalo nga kiranga nga bwe waliwo ente ze bakwatidde e Nsangi nga kuliko abasajja abazirunda.

Yagenda ku poliisi y'e Nsangi n'azuula nga ente bwe zaali zaabwe era abasibe bano ne bakwasibwa poliisi y'e Kajjansi.Omulambo gwa Kamugisha gwajjiddwa mu Ggwanika lye Mulago n'azikibwa e Kitovu-Kajjansi.

Omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yategeezezza nti ku ttemu lino bakutte abasajja babiri ababadde bagoba ente nga bakumibwa ku poliisi y'e Kajjansi nga waliwo n'omusajja omulala gwe banoonya agambibwa okudduka nga bwanaakwatibwa waakuvunanibwa omusango gw'obutemu n'obubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...