TOP

Engule Bobi Wine gye yawangudde emuwanise

Added 9th December 2019

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku maanyi mu kalulu ka 2021.

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey'omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku maanyi mu kalulu ka 2021.

Yakwasiddwa engule ya Friedrich Naumann African Freedom Award mu kibuga Johannesburg ekya South Afrika ku Lwokutaano.

Gwabadde mukolo gwa kitiibwa ogwetabiddwaako ne Bannayuganda okuli Omubaka wa Kawempe North, Latif Ssebagala. Nga tannakwasibwa ngule yasoose kuyimba ezimu ku nnyimba ze okuli Kyalenga kyokka bakira azikomya wakati olw'obudde.

N'agamba: munsonyiwe bwe mbalabikira ng'acamuukiridde kubanga guno gwe mukisa gwe nfunye okuyimba. Ewaffe mu Uganda sirina mirembe wadde okuyimba ku siteegi mu nsi yange.

Ekitongole kya Friedrich Naumann ekyawadde Bobi Wine engule ky'e Girimaani, kyokka kirina amatabi okuli ery'e South Afrika eritwala ekitundu ekiri mu bukiikaddyo bw'eddungu Sahara.

Engule eweebwa abalwanirira eddembe lyobuntu n'ery'ebyobufuzi (Liberal politics). Ekitongole kyatandikibwawo Theodor Heuss eyali ow'ekibiina kya Free Democratic Party era eyali Pulezidenti wa Federal Republic of Germany okuva mu 1949 okutuuka mu 1959.

Bobi Wine yategeezezza nga bwe gwabadde omukisa omunene okusiima by'akola ekyamuzzizzaamu amaanyi okumanya nti ali ku mulamwa.

Engule esanze Bobi Wine yaakawangula endala eya Best Male Politician of 2019 eyamuweebwa ekibiina kya Young African Leaders Summit mu kibuga Accra ekya Ghana omwezi oguwedde.

Ku Lwomukaaga, Bobi Wine engule yagitwalidde Bannayuganda ababeera mu kibuga Cape Town e South Afrika abeetabye mu lukuhhaana lwa People Power. Oluvannyuma yayimbye mu kivvulu.

Latif Ssebaggala yasiimye aba People Power e South Afrika olw'engeri gye baabaanirizza n'agamba nti enkulaakulana eri mu nsi eyo kyakuyiga kinene eri Uganda eyeetaaga enkyukakyuka mu byobufuzi "olwo naffe tutandike okutunulako ewala nga bannaffe aba South Afrika".

Jajja Ibrahim, akulira People Power e South Afrika yagambye nti engule eraga nti amawanga n'ebitongole bingi biri wamu ne People Power n'ebigendererwa byayo.

Tekyategeerekese oba engule eno ejjirako ensimbi n'ebintu ebirala.

Kyokka ekitiongole ekyo kirina enkola y'okussaawo okuvuganya ku ani asinga okuleeta pulojekiti ereetawo enkyukakyuka mu bantu mu nkola ya "Africa Freedom Innovation Challenge".

Pulojekiti egenderera okuleetera abantu emirembe mu byobufuzi, ebyenfuna, okusitula embeera zaabwe, okulwanyisa enguzi n'ebintu ebirala ebigwa mu kiti ekyo. Omuwanguzi atera afuna Euro 5000 (mu za Uganda obukadde 20),

Bobi Wine yakoleddwa enteekateeka okusisinkana Julius Malema akulira ekibiina kya Economic Freedom Fighters (EFM) ekimu ku biwakanya Gavumenti y'e South Afrika.

Malema ye yali akulira ekibiina kya African National Congress Youth League (ANCYL) bwe yali tannagobwa mu kibiina kya African National Congress (ANC) ekiri mu buyinza e South Afrika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...

Ssekandi ayozaayozezza Bann...

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi ayozaayozezza Bannamasaka okusajjakula ne bafuna City nga ne disitulikiti...