TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Added 9th December 2019

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

 Julie Angume bwe yafaananye ku Introduction Shower ye

Julie Angume bwe yafaananye ku Introduction Shower ye

JULIE Angume akyusizza erinnya ng'ategeka okwanjula kwe. Kati bamuyita Julie The Heart Beat.

Amannya gaayanjuddwa ku mukolo gwa ‘Intro shower' ogwaddiridde okwanjula kwe okugenda okubeera e Kiboga ku Lwokuna luno mu maka ga bazaddebe, Ronald Ssemugga ne Mariam Semugga nga kati bagenzi.

Bbaawe Sam Sekajugo yeyamuwadde erya The Heart Beat ng'agamba nti omutima guba gumukuba buli lw'alaba ku Julie.

Omukolo ogwabadde ku Fair Way hotel mu Kampala ku Lwokutaano, gw'amukoleddwa mikwano gye, Qeen Florece, Jamirah Karungi, Princess Amiirah, Ameria Nambala, Sarah Kabenge, Faridah Ndausi n'abalala nga Senga Amidah Namatovu yeyasomesezza eby'ekisenge.

Namatovu yamukubirizza okwagala bbaawe, obutamuswaza, okumuwa buli ky'akulya ate w'akyagalidde, okubeera omuyonjo, obutakkiriza ‘hawusigaalo' kukola bya mumaka byonna omuli n'okwala obuliri bwa bba n'ebirala.

Julie yatuuse leeti ku mukolo guno olw'abategesi okwagala okugumusuulako nga tategedde kyokka ne besanga nga yabadde agenze ku kisaawe e Ntebe okunona bba eyabadde ava ebweru. Yatuuse ssaawa mukaaga ez'ekiro nga n'abamulinze emmere batandise okugirya. Embaga egenda kubaawo nga 22 December, 2019

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...