TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala n'atwalibwa mu ddwaliro ng'ataawa

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala n'atwalibwa mu ddwaliro ng'ataawa

Added 9th December 2019

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu ddwaliro nga naye embeera gy’alimu ssi nnungi. Ekikangabwa kino kigudde kumpi ne yunivasite ya UCU e Mukono.

 Ono ye yasittuse

Ono ye yasittuse

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire ategeezezza nti omugenzi ye Jane Nakirya, 17, ng'ono yava Budaka okujja e Mukono okuyiga okusiba enviiri.

Owoyesigyire agambye nti ate Mariam Madadi eyasuze mu nnyumba y'emu ng'omuzigo guno gulimu saloon ate we bagguliddewo ng'embeera ye mbi nnyo era n'addusibwa mu ddwaliro lya Mukono International Medical Centre okufuna obujjanjabi.

Wabula ye nannyini saloon eno, Abbi Haumba poliisi emukutte n'emuggalira okugira ng'agiyambako okukola okunoonyereza ku kiki ekyaviiriddeko ekikangabwa kino.

Abatuuze abamu bagamba nti bandiba nga bano baalidde butwa sso ng'abalala basonga ku kyakuziyira kuba omuzigo mwe baasuze gwakolebwa mu bbaati erya konteyina sso nga tekulu wadde akamooli.

 

Owoyesigyire agambye nti omulambo gwa Nakirya gutwaliddwa mu ggwanika ly'edwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa basobole okuzuula ekituufu ekyamuviiriddeko okufa.

Wabula oluvannyuma lw'essaawa ng'emu nga Madadi ajjanjabirwa, asangiddwa mu ddwaliro ng'azze engulu wadde ng'akyali munafu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...