TOP
  • Home
  • Amawulire
  • RDC w'e Mukono akulembeddemu kaweefube w'okulwanirira ebyobugagga bya disitulikiti

RDC w'e Mukono akulembeddemu kaweefube w'okulwanirira ebyobugagga bya disitulikiti

Added 9th December 2019

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

 Abakungu ba NRM abakulembeddwa RDC Fred Bamwine mu ofiisi ya CAO, James Nkata

Abakungu ba NRM abakulembeddwa RDC Fred Bamwine mu ofiisi ya CAO, James Nkata

Bya Joanita Nakatte

Bannakibiina kya NRM nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe e Mukono, Hajji Twahiir Ssebaggala n'omubaka wa Pulezidenti e  Mukono Fred Bamwine bakubye olukiiko okukakasa ebizze byogerwa ku ky'okutunda ebyobugagga by'ekitebe kya disitulikiti eno n'okubirwanirira.

  red amwine nabakungu abalala nga balambula ekizimbe RDC Fred Bamwine n'abakungu abalala nga balambula ekizimbe omuterekebwa eddagala 

 

Ebimu ku bino kwe kuli ettaka n'ebizimbe ebitudde ku kitebe kya disitulikiti eno era nga bino we bibeereddewo, ng' ettaka eririko ennyumba z'abasawo lyo  lyatundibwa dda, nga n'ettaka okutudde ekitebe kya disitulikiti eno lyatemebwamu poloti ezisoba mu 43 ezirindiridde okugenda ku katale olwo ekitebe kisigaze yiika ttaano.

Bano baasoose kulambula kizimbe kya gavumenti omuterekebwa eddagala nga kino kyasangiddwa mu mbeera embi era ng'akulira abakozi e Mukono, James Nkata yalagira kibalirirwe bamanye ensimbi ezikigyaamu oluvannyuma kitundibwe.

Eno baasanze tekyaterekebwayo ddagala okuggyako  ebisanduuke ebiweddemu era ng'ekizimbe kyetaaga kuddaabirizibwa.

  amwine ngaliko ensonga zannyonnyola RDC Bamwine ng'aliko ensonga z'annyonnyola

 

Oluvannyuma baayolekedde ew'akulira abakozi e Mukono, James Nkata abannyonnyole lwaki yalagira ekizimbe kibalirirwe ate nga kaliisoliiso yali yawandiika ng'ayimiriza okutunda ebyobugagga bya disitulikiti eno, n'asaba abakungu ba NRM bano okumukkiriza abannyonnyole olwo ne beesogga akafubo akatakkiriziddwaamu bannamawulire.

Bakansala baagambye nti, baayisa ekiteeso eky'okusalamu ekyapa kya disitulikiti oluvannyuma lw'ebbanja okulinnya okutuukira ddala ku bukadde 215 aba Buganda Land Board e Mengo ze babanja era ne beekwasa nti, ebitongole bya gavumenti ebirala nga ofiisi ya RDC, kkooti, NIRA, ekkomera ly'e Kawuga n'ebirala bingi byali tebisasula ssente za bupangisa.

 bookisi enkalu ezitereka eddagala ezaasangiddwa wabweru wekizimbe omuterekebwa eddagala Bbookisi enkalu ezitereka eddagala ezaasangiddwa wabweru w'ekizimbe omuterekebwa eddagala

 

Abamu baateesezza nti, wabeewo n'ebimu ku byobugaga bya disitulikiti ebiba bitundibwa nga lufula y'e Kyetume, ekizimbe omutundirwa eddagala lya gavumenti n'ebirala basobole okusasula amabanja agabali mu bulago n'okumaliriza ekitebe kya disitulikiti eno.

RDC w'e Mukono, Fred Bamwine yagambye nti oluvannyuma lw'okuwandiikira kaliisoliiso wa gavumenti ku byali bigenda mu maaso ku nsonga zino, yaweebwa ekiragiro eky'okwogera n'akulira abakozi ku kitebe kya disitulikti eno, James Nkata obutabaawo kitundibwa kyonna era nga si wa kukkiriza nsonga eno kugenda mu maaso okutuusa nga gavumenti y'ewadde obuyinza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...