
Nansubuga
Prossy Nansubuga omutuuze w'e Matugga-Kabunza y'omu ku babonaabona olwa bba okutandika ebyokusamira.
Embeera ey'okunyigirizibwa gye yayisibwamu aginyumya bwati; Nafumbiriganwa n'omwami wange mu 1999, wadde tetwali bagagga nnyo wabula obufumbo bwaffe bwalimu emirembe.
Mu 2015 obufumbo bwatandika okutabanguka oluvannyuma lwa baze okugula amayembe.
Buli kiro yazuukunga n'akuma akasigiri n'emisubbaawa mu muzigo wetwali tupangisa ng'agamba nti bajjajja be balina okwota omuliro.
Oluusi twaggulangawo mu ttumbi amadirisa okufuna ku mpewo naye nakyo nga kimuyombya.
Oluvannyuma yadduka nandekera abaana mu muzigo. Nawalirizibwa okumuloopa ku poliisi e Kawempe.
Bano bankwataganya n'ekitongole kya Action aid, abannyamba okumuggyamu ssente z'okuzimba ennyumba mu poloti gye twali twagula.
ENGERI ACTION AID GY'EMUYAMBYE
Bannyamba okunoonya omwami wange ne bamutwala ku poliisi nayo eyamuweereza mu kkooti.
Bannambula buli luvannyuma lw'ebbanga okulaba embeera mwendi. Bansomesezza okubeera omuvumu n'okwekkirizaamu.