TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Added 10th December 2019

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

 Mutebi Hannington ng'alamusa ku bantu mu All Saints Church

Mutebi Hannington ng'alamusa ku bantu mu All Saints Church

Hannington Mutebi omulabirizi omubeezi ow'obulabirizi bwa Kampala  akomyewo okuva e Bungereza gy'amaze ebbanga erikunukkiriza mu mwaka omulamba ng'ajjanjabibwa ekirwadde kya Kansa.

Mutebi yatawalibwa e Bungereza mu mwezi gwa January w'omwaka guno oluvannyuma lw'okukizuula nti alina obulwadde bwa Kansa ow'omumusaayi era abadde ajjanjabibwa mu ddwaliro lya Kings College Hospital.

Dr. Henry Ddungu okuva mu Uganda Cancer Institute yasinzidde ku Kanisa ya All Saints e Nakasero mu kusaba kw'okwebaza olw'obulamu Katonda bw'awadde Bp. Mutebi n'ategeeza nti oluvannyuma lw'Abasawo okukyusa obusomyo bw'Omulabirizi, omubiri tegukyalina busobozi kulya buli mmere okuggyako eyo Abasawo gye baasazeewo.

"Omulabirizi mwewale okumukwata mu ngalo, kubanga singa afuna yinfekisoni yonna obulamu bwe bubeera mu matigga. Abamutegekedde ebijjulo munamusonyiwa kubanga talina kulya buli kimu olw'ensonga nti byalina mu mubiri gwe ssibyebyo eby'obutonde nga kyetaagisa okwegendereza ennyo." Dr. Ddungu bwe yagambye.

Mu kusaba okwakulembeddwa Ssaabalabirizi omulonde Stephen Kazimba Mugalu, Maama Milly Kisakye Mutebi nga ye mukyala wa Bp. Mutebi, yeebazizza abantu bonna ababadduukiridde nga babawa ensimbi z'obujjanjabi okuva omwaka oguwedde Abasawo bwe baakabatema nti Omulabirizi alina kkansa w'omusaayi.

Ye Omulabirizi Mutebi yategeezezza nti wakati mu bulumi yafuna ekirooto, nga Katonda amugamba nti "luno lutalo lwange, nja kululwana era nduwangule". "Ndabye Katonda ng'akola ebikuuno mu bulamu bwange". Bp Mutebi bwe yagambye wakati mu ssanyu.

Ye Ssaabalabirizi omulonde Stephen Kazimba Mugalu, yagambye nti amaanyi ga Katonda gasinga okutegeera kw'Abantu, era okuwonya Bp. Mutebi akikoze okulaga abakkiriza nti alina obuyinza ku bulamu n'okufa.

Okusaba kuno kwetabiddwaako amyuka Gavana wa Banka enkulu Louis Kasekende, Sipiika w'olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule, Gen. Katumba Wamala, Omumyuka wa Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala Msgr. Lawrence Ssemusu n'abebitiibwa abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...