TOP

Obulabirizi bw'e Mukono bukyusizza abasumba

Added 10th December 2019

Obulabirizi bw’e Mukono bukyusizza abasumba

OLUKIIKO olufuzi olw'obulabirizi bw'e Mukono nga lukulemberwa ssentebe waalwo, omulabirizi w'e Mukono James William Ssebaggala lukoze enkyukakyuka mu babasumba b'ekkanisa mu bulabirizi buno n'okukuza abamu kw'abo.

Omulabirizi Ssebaggala yagambye nti enkyukakyuka zino zaabulijjo era ezikolebwa olw'obulungi bw'obuweereza n'okutambuza emirimu gya Katonda.

Omuwadiisi w'obulabirizi bw'e Mukono, Canon John Ssebudde yategeezezza nti mu nteekateeka eno, obulabirizi bw'e Mukono bwafunye obusaabadinkoni obuggya obwa Nassuuti nga buno bwalondeddwa okukulirwa Ven. Godfrey Ssengendo.

Ven. Ssengendo y'abadde Viika wa lutikko y'abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono okumala emyaka 6. Obusaabadikoni bw'e Nassuuti buwezezza obusaabadinkoni mwenda obukola obulabirizi bw'e Mukono okuli; Seeta, Mukono Cathedral, Kangulumira, Ndeeba, Ngogwe, Bukoba, Nakibizzi ne Lugazi.

Ssebudde yagambye nti obusaabadinkoni bw'e Nassuuti bwakukolebwa obusumba okuli; Nassuuti, St. Dunstan, Namuyenje, Ddandira, Namakwa ne Kyetume nga bwakutongozebwa omwaka ogujja.

Abasumba abalala abaakyusiddwa kuliko; Rev. Edward Muyomba abadde Viika w'obusumba bw'e Nassuuti ng'ono yatwaliddwa okubeera Viika wa Lutikko e Mukono, Rev. Godfrey Sono okuva e Gulama nga yazziddwa ku Lutikko, Rev. Barbra Nakityo Koosi abadde akulira ekitongole ky'abaana n'abavubuka nga yasindikiddwa e Nassuuti ng'amyuka Viika waayo,  Rev. David Ssekimpi okuva e Najjembe yazze Namataba ne Rev. Nafutali Kasekende Kayemba okuva e Namataba n'agenda mu busumba bw'e Nyenga.

Abalala be ba; Rev. Jessy Ssendege okuva e Nyenga n'agenda Namagabi nga Viika, Rev. David Musa Ssebuliba okuva e Namagabi okudda e Namuyenje nga Viika, Rev. James Kato Kisozi okuva e Namuyenje okudda e Najjembe nga Viika ne Rev. Esau Zziwa okuva e Kayanja mu tawuni kanso y'e  Namataba okugenda e Bbaale mu disitulikiti y'e Kayunga nga Viika.

Rev. Samuel Sserwadda yakyusiddwa okuva e Kitimbwa n'asindikibwa mu Centenary Community College Kaazi nga ssenkulu w'etendekero sso ng'abadde ssenkulu waalyo, Rev. Micheal Mukasa Muwemba yasidikiddwa Seeta ku St. Luke ng'omumyuka wa Viika.

Abalala; Rev. Elia Kisitu Ssengendo yaggyiddwa e Bbaale n'atwalibwa e Kitimbwa nga Viika, Rev. Bernard Ssendagire okuva e Nasssuuti n'asindikibwa e Ssi mu disitulikiti y'e Buikwe, Rev. Isaac Luzinda okuva e Ssi n'adda e Kikandwa ng'omumyuka wa Viika, Rev. Daniel Kiggundu okuva e Kiyunga n'adda e Nakifuma ku Canon Zzimbe nga Viika.

Rev. David Mukooza okuva e Bukaya n'agenda e Kiyunga nga Viika, Rev. Ephraim Mbatya okuva e Kiwumu n'asindikibwa e Bukaya nga Viika, Rev. William Kiggundu okuva e Kikandwa n'agenda e Kiwumu nga Viika, Rev. Ivan Kiberu okuva e Ndeeba n'omumyuka wa Viika nga yasindikiddwa e Gulama nga Viika mu busumbwa obwo obupya ne Rev. Samuel Kizito okuva ku Canon Zimbe n'adda e Jinja Misindye, mu busumba obupya nga Viika.

Ssebudde era yagambye nti Rev. Capt. Canon Titus Baraka eyali akulira ekitongole ekibuulizi ky'enjiri ku kitebe ekikulu eky'ekkanisa ya Uganda (Province) oluvannyuma lw'okuwummula ku buweereza obwo kati waakuyamba ku buweereza ku Lutikko e Mukono sso nga ye Rev. Capt. Wilson Kkonde okuva e Seeta yakyusiddwa n'azibwa mu woofiisi y'obulabirizi nga y'avunaanyizibwa ku bavubuka n'abaana.

Yategeezezz nti ekyukakyuka zino zaakuteekebwa mu nkola okuva nga January 1, 2020.

Mu kwogerako ne Ven. Ssengendo ku ssimu, yasanyukidde obuweereza obupya obwamuweereddwa n'agamba nti bulina okusoomoozebwa ate era mukisa gy'ali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...