TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe ne balowooza mulalu!

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe ne balowooza mulalu!

Added 10th December 2019

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala babiri okumpi n’enkambi y’amagye ne kitiisa abeebyokwerinda nti waliwo ekibinja ekinene ekiri emabega w’obutemu buno.

 Bambega ba poliisi nga bassa omulambo mu ambyulensi.

Bambega ba poliisi nga bassa omulambo mu ambyulensi.

Ekitundu ky'e Nakasongola kirimu abajaasi bangi abava mu nkambi y'amagye mu kitundu ekyo. Ekitakuza abeebyokwerinda emitwe y'engeri abantu omukaaga gye batemeddwaako emitwe mu nnaku ssatu zokka ne batatya magye.

Ku Lwokutaano, omuzigu eyabadde n'ejjambiya yasanze omukazi ng'aweese omwana e Wabigalo mu Ggombolola Wabonyonyi, Nakasongola n'amumusikako n'amutemako omutwe nga nnyina alaba.

N'okutuusa kati mukaziwattu Florence teyeetegera olw'engeri eyentiisa omwana we Amos Sekanza gye yattiddwa.

Omuzigu bwe yamaze okusala omwana n'alumba Donozio Matovu gwe yasanze mu ffumbiro naye n'amusalako omutwe. Yazzeeko okutemako omutwe Judith Adul 33, gwe yasanze mu kkubo nga yeetisse ekinywa ky'enku.

Abeebyokwerinda baasoose kuteebereza nti yabadde musajja mulalu. Kyokka baamuyizze e Wabigalo n'ebyalo ebiriraanyewo n'abula.

Ku Mmande ku maliiri abatuuze baagudde ku mirambo gya bannaabwe ebiri nga batemeddwaako emitwe.

 

 

 batuuze be abigalo nga bakungaanidde we battidde batuuze bannaabwe Abatuuze b'e Wabigalo nga bakung'aanidde we battidde batuuze bannaabwe.

Kuliko Fred Mujuni 40, ne Fred Bulega 41, abatuuze e Kitego okumpi n'e Wabigalo. Emirambo gyazuuliddwa omutuuze Rashid Barigye eyakedde eggulo okugenda okukola.

Yeekanze omuntu agudde wansi n'alowooza nti mutamiivu agudde ku kkubo. Bwe yeeyongedde okwetegereza nga kiwuduwudu.

Yayongedde okusemberera gwe yasoose okuyita omutamiivu n'asanga nga mulambo oguli mu kitaba ky'omusaayi.

Yakubye enduulu abatuuze ne bakuηηaana. Poliisi nayo yazze. Baasambye ensiko ne basanga omulambo omulala nga gwesudde akabanga katono okuva ku gwe baasoose okulaba. Mujuni mukozi ku ffaamu ya Ibrahim Ssebuliba eyennyamidde okufiirwa omukozi abadde ow'amaanyi.

Ssebuliba yagambye nti Mujuni abadde atera okugenda okunywa omwenge ng'amaze okukola emirimu.

Bwe baamulinze n'atadda ne balowooza nti asuzeeyo gye yagenze okunywa omwenge. Ku Mmande ku makya baafunye amawulire nti waliwo emirambo gye bazudde.

Ssebuliba yaguddewo ekigwo bwe yatuuse awali emirambo nga kuliko ogwa Mujuni. Poliisi emirambo yagitutte mu ggwanika ku ddwaaliro lya Nakasongola Health Centre IV.

 

 kulira poliisi ye akasongola atience amara ngaliko byannyonnyola abatuuze Akulira poliisi y'e Nakasongola, Patience Namara ng'aliko byannyonnyola abatuuze.

 

AKABINJA K'ABATEMU KANENE - RDC

RDC w'e Nakasongola, Dan Muganga yategeezezza nti mu kunoonyereza kwe baakakola bazudde nti eyatemyeko abantu emitwe ali mu kabinja kagazi akafaanana obubinja obubadde butigomya Masaka, Mityana ne disitulikiti endala.

Ekyenjawulo kano akabinja katemako mitwe. Wadde ng'obubinja bwe Masaka n'e Mityana bw'atemaatema abantu n'ebijambiya ne batuusibwako ebisago n'abamu ne battibwa, kyokka tewali yatemwako mutwe.

N'agamba nti yatuuzizza olukiiko lw'ebyokwerinda olwabaddemu abaserikale ba poliisi n'abamagye b'e Nakasongola ne basalawo okuyiwa abaserikale buli wantu bafeffette abatemu bano.

POLIISI EKUTTEYO BASATU

DPC w'e Nakasongola, Patience Namara yategezezza nti baakakwata abantu basatu babayambeko mu kunoonyereza okuzuula abatemu.

Abaakwatiddwa ababiri baggaliddwa ku poliisi y'e Luweero ate omulala ku y'e Nakasongola.

Namara yagambye nti waliwo emmotoka enjeru abatuuze gye beekengedde ekika kya Corona gye banoonya.

N'agumya abatuuze nti abaserikale bagenda kutereeza ekyalo amangu ddala. N'abasaba okukolagana n'abeebyokwerinda nga babaloopera abantu be beekengera. Era beewale okutambula ekiro.

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago
abantu bana, baasoose kumuyita
mulalu. Azzeeyo ku kyalo
n'atemako emitwe abalala babiri
okumpi n'enkambi y'amagye ne
kitiisa abeebyokwerinda nti waliwo
ekibinja ekinene ekiri emabega
w'obutemu buno.
Ekitundu ky'e Nakasongola
kirimu abajaasi bangi abava mu
nkambi y'amagye mu kitundu
ekyo. Ekitakuza abeebyokwerinda
emitwe y'engeri abantu omukaaga
gye batemeddwaako emitwe mu
nnaku ssatu zokka ne batatya
magye.
Ku Lwokutaano, omuzigu eyabadde
n'ejjambiya yasanze omukazi
ng'aweese omwana e Wabigalo
mu Ggombolola Wabonyonyi,
Nakasongola n'amumusikako
n'amutemako omutwe nga nnyina
alaba. N'okutuusa kati mukaziwattu
Florence teyeetegera olw'engeri
eyentiisa omwana we Amos
Sekanza gye yattiddwa.
Omuzigu bwe yamaze okusala
omwana n'alumba Donozio Matovu
gwe yasanze mu ffumbiro naye
n'amusalako omutwe. Yazzeeko
okutemako omutwe Judith Adul
33, gwe yasanze mu kkubo nga
yeetisse ekinywa ky'enku.
Abeebyokwerinda baasoose
kuteebereza nti yabadde musajja
mulalu. Kyokka baamuyizze e
Wabigalo n'ebyalo ebiriraanyewo
n'abula. Ku Mmande ku maliiri
abatuuze baagudde ku mirambo
gya bannaabwe ebiri nga batemeddwaako
emitwe. Kuliko Fred Mujuni
40, ne Fred Bulega 41, abatuuze
e Kitego okumpi n'e Wabigalo.
Emirambo gyazuuliddwa
omutuuze Rashid Barigye eyakedde
eggulo okugenda okukola.
Yeekanze omuntu agudde wansi
n'alowooza nti mutamiivu agudde
ku kkubo. Bwe yeeyongedde
okwetegereza nga kiwuduwudu.
Yayongedde okusemberera gwe
yasoose okuyita omutamiivu
n'asanga nga mulambo oguli mu
kitaba ky'omusaayi.
Yakubye enduulu abatuuze ne
bakuηηaana. Poliisi nayo yazze.
Baasambye ensiko ne basanga
omulambo omulala nga gwesudde
akabanga katono okuva ku gwe
baasoose okulaba.
Mujuni mukozi ku ffaamu
ya Ibrahim Ssebuliba eyennyamidde
okufi irwa omukozi
abadde ow'amaanyi.
Ssebuliba yagambye nti
Mujuni abadde atera okugenda
okunywa omwenge
ng'amaze okukola emirimu.
Bwe baamulinze n'atadda ne
balowooza nti asuzeeyo gye
yagenze okunywa omwenge.
Ku Mmande ku makya
baafunye amawulire nti
waliwo emirambo gye bazudde.
Ssebuliba yaguddewo
ekigwo bwe yatuuse awali
emirambo nga kuliko ogwa
Mujuni. Poliisi emirambo
yagitutte mu ggwanika ku
ddwaaliro lya Nakasongola
Health Centre IV.
AKABINJA K'ABATEMU KANENE - RDC
RDC w'e Nakasongola, Dan
Muganga yategeezezza nti mu
kunoonyereza kwe baakakola
bazudde nti eyatemyeko abantu
emitwe ali mu kabinja kagazi
akafaanana obubinja obubadde
butigomya Masaka, Mityana ne
disitulikiti endala.
Ekyenjawulo kano akabinja
katemako mitwe. Wadde
ng'obubinja bwe Masaka n'e
Mityana bw'atemaatema abantu
n'ebijambiya ne batuusibwako
ebisago n'abamu ne battibwa,
kyokka tewali yatemwako mutwe.
N'agamba nti yatuuzizza olukiiko
lw'ebyokwerinda olwabaddemu
abaserikale ba poliisi n'abamagye
b'e Nakasongola ne basalawo
okuyiwa abaserikale buli wantu
bafeffette abatemu bano.
POLIISI EKUTTEYO BASATU
DPC w'e Nakasongola, Patience
Namara yategezezza nti baakakwata
abantu basatu babayambeko
mu kunoonyereza okuzuula
abatemu. Abaakwatiddwa ababiri
baggaliddwa ku poliisi y'e Luweero
ate omulala ku y'e Nakasongola.
Namara yagambye nti
waliwo emmotoka enjeru abatuuze
gye beekengedde ekika kya
Corona gye banoonya.
N'agumya abatuuze nti abaserikale
bagenda kutereeza
ekyalo amangu ddala. N'abasaba
okukolagana n'abeebyokwerinda
nga babaloopera abantu be beekengera.
Era beewale okutambula
ekiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...