TOP

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye omwana we

Added 10th December 2019

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako omutwe n’amutta e Nakasongola attottodde ebyabaddewo n’agamba nti baamulwanidde n’amusinga amaanyi n’alyoka amutemaatema bwe baabadde bava mu ddwaaliro.

 Nannyombi gwe battidde omwana.

Nannyombi gwe battidde omwana.

‘‘Omusajja y'ajja n'atuyitako ng'ayanguwa era saategedde gye yabulidde. Nazzeemu okumwekanga ng'afubutuka mu nsiko n'ejjambiya ng'agamba nti ono omwana gwe njagala.

Twamulwanidde n'ansinza amaanyi n'amutemaatema nga bwenkuba enduulu kyokka nga tewali antaasa kwe kudduka ku poliisi y'e Wabigalo okuloopayo ensonga'' Nannyonga bwe yagambye. Obutemu bwabadde ku byalo Kyankonwa ne Wabigalo e Nakasongola.

Omusajja ono agambibwa okuba mu myaka ng'abiri nga yasala enviiri eza ‘fulenki kaati' tekyategeerekese kigendererwa kye era tannakwatibwa.

Ate ye muwala w'omugenzi Adonoziyo Matovu naye eyattiddwa omuzigu agamba nti kitaabwe abadde abeera ne bazzukulu be kyokka omutemu we yatuukidde nga tebaliiwo.

Teopista Kabalokole agamba nti ekyennaku omuzigu we yalumbidde kitaawe Matovu bazzukkulu be tebaabaddewo nga bagenze kuzannya era baagenze okudda nga jjajjaabwe attiddwa.

Abalala abattiddwa kuliko: Judith Adul 33 n'omwana Mesach Mawanda ow'emyaka 10. Omubaka w'e Nakasongola, Noah Wanzala yavumiridde ekikolwa kino n'agamba nti eyakikoze yeetaaga kudda eri Katonda.

Omuduumizi wa poliisi e Nakasongola, Patience Namara agamba nti waliwo abaakwatiddwa bayambeko mu kubuuliriza kuno.

N'ayita abalina kye bamanyi naddala omukyala gwe baasikako omwana Florence Nanyombi ajje yeetegereze abakwate oba mulimu eyamuttidde omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...