TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Added 10th December 2019

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

MINISITA w'ebyamawulire ne tekinologiya Frank Tumwebaze ayagala KCCA esseewo obukwakkulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala ng'omuntu alina kusooka kizimbe kiteekamu yintanenti  eryoka emukiriza okukikozesa.

Tumwebaze era agamba nti waliwo etteeka eriri mu kkubo erigenda okukaka minisitule  n'ebitongole bya gavumenti byonna okussa empereza yabyo ku mikutu gya yintanenti abamanyi ebya tekinologiya banguyirwe okumanya ebigenda maaso mu gavument

Agamba nti okweyambisa enkola ya tekinologiya empya kijja kuyamba okulwanyisa enguzi kuba abantu bajja kuba tebakyasobola kusisinkana bakungu mu buntu kubakuba bwama nga babawe enguzi.

Bino yabitegeezezza mu lukung'ana lwa bannamawulire ku kitebe kya minisitule ye bwe yabadde alanga omwoleso gw'ebikolebwa tekinologiya ogutegekeddwa minisitule ye nga gwakubeera ku ttendekero lya Nakawa Institute oc ICT nga December 17. Gwakuggulwawo Pulezidenti Museveni.

Yayise abantu abatalina ekintu kyonna kye bayiiyizza ekyekuusa ku tekinologiya okujja okwolesa Bannayuganda bakimanye era kiggyewo endowooza egemba nti abayiiya bali bweru wa Uganda yokka.

Yategeezezza nti KCCA yetaaga okukaka bannyini bizimbe okussaamu yintanenti era kano kabe kakwakulizo ku muntu yenna ayagala okuzimba nga bwe guli ku masanyalaze,amazzi n'ebirala nga pulaani y'ayagala okuzimba tenayisibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.