TOP

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Added 10th December 2019

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Mutebile

Mutebile

BBANKA enkulu etegeezezza nti kimenya mateeka omuntu yenna okuwandiika ku mpapula za ssente oba okussaako obubaka obw'ekika kyonna n'ekunga abantu okutandika okugaana ssente ezibawebwa nga mpandikeko ne ppeeni.

Gavana wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti waliwo abantu abatandise okuwandiika obubaka bw'ebyobufuzi ku mpapula za ssente n'agamba nti kino tekikoma ku kuzonoona mutindo wabula kimenya mateeka.

N'agamba nti bbanka enkulu yokka y'erina obuyinza obw'okusalawo ebissibwa ku ssente sso ssi bantu kuziyuza oba okuziwandiiko n'okuzonoona mu ngeri endala.

Mutebile bino yabitegeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza  n'agamba nti kidiridde ssente okutandika okulabikira ku mikutu gya ‘social media' nga ziwandiikiddwaako obubaka obutali bumu ekimenya amateeka.

Yagambye nti omuntu akwata ssente empandikeko kyangu okuzifiirwa kuba teziba za mutindo gwe zaakolebwako era abantu basanidde okugaana ssente ezo. N'agamba nti omugaso gwa ssente kusasula muntu aba akoze omulimu oba okumuwebwa olw'ensonga endala sso ssi kuzanyirwako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...