TOP

Freeman ayagala Butebi amuliyirire obukadde 500

Added 11th December 2019

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula.

Freeman agamba nti Butebi takomye kumwonoonera linnya, wabula amuleetedde n'okukola loosi ya bukadde 500 era ayagala kkooti emulagire amuliyirire ssente zino ssaako n'endala, kkooti z'eneesalawo ezigya mu byonna by'ayiseemu.

Butebi baamuloopye ne Jackline Kwarisiima. Kiyimba alumiriza nti Butebi akozessa Kwarisiima okuweereza obubaka mu bantu obumulabisa (Freeman) ng'omubbi.

Freeman Kiyimba, ssentebe w'ekibiiba ekigatta abalina amaduuka mu ppaaka empya ekya M/S New Park lock up owners Association, yagambye nti Butebi azze amwogerako ebigambo ebikyamu ng'abiyisa ku ssimu ya Kwarisiima ne bituuka mu basuubuzi.

Freeman yayise mu balooya ba Kizito Lumu Advocates n'agamba nti ku buvunaanyizibwa obuzze bumuweebwa mu Buganda ne mu kkanisa ne Klezia, abadde musajja mwesigwa era tewali muntu yenna yali avuddeyo n'agamba nti yakumpanya ssente era ebigambo bya Butebi bimwonoonedde erinnya.

Kkooti yayisizza dda ekiragiro ekiragira Butebi ne Kwarisiima okwewozaako ku bibavunaanibwa mu nnaku 15 okuva eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...