TOP

Amagye gasse ababbi 4 omulundi gumu

Added 11th December 2019

Yabadde nga firimu eya “ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama,” amagye bwe gaabadde gakubagana n’ababbi e Mutundwe eggulo. Byagenze okuggwa ng’ababbi bana battiddwa.

 Amagye ne poliisi nga beetoolodde omulambo gw’omubbi.

Amagye ne poliisi nga beetoolodde omulambo gw’omubbi.

Yabadde nga firimu eya "ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama," amagye bwe gaabadde gakubagana n'ababbi e Mutundwe eggulo. Byagenze okuggwa ng'ababbi bana battiddwa.

Amagye galabudde bwe gatandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti okukuba ku nnyama n'okuttirawo ababbi, abatemu n'abamenyi b'amateeka abatadde eggwanga ku bunkenke.

Maj Gen Samuel Kawagga eyaduumidde olutalo lw'okuba ababbi bano agambye nti ekikwekweto kye baakoze kiyitibwa "Tokola 3". "Twasooka kukola kikwekweto nnamba 1, ne tuddako 2, kati mu Tokola 3, mwe tugenda okulaga ababbi enkola", bwe yategeezezza akawungeezi k'eggulo.

Essaawa zaabadde zikunukkiriza 9:30 eggulo, ababbi nga batambulira mu mmotoka z'obuyonjo bbiri ne bayingirawo e Mutundwe mu Kigagga Zooni mu Munisipaali y'e Lubaga.

 magye nga gamalirizza okukola ekikwekweto mwe gattidde ababbi abana Amagye nga gamalirizza okukola ekikwekweto mwe gattidde ababbi abana.

Baagenze kunyaga ew'omugagga Matiya Kayiira atunda ppikipiki mu Ndeeba era nnannyini Value Super Market e Kitebi. Bwe baatuuse ku ggeeti, baayagadde okuyingira ku kifuba.

Kyokka kkamera zaabadde zibakwata. Mu kiseera kino abakuumaddembe okwabadde aba UPDF, LDU ne poliisi baabadde basazeeko ekifo oluvannyuma lw'okutemezebwako ku ddiiru eno.

Ababbi bwe baategedde nga babasazeeko kwe kutandika okutulisa amasasi era agamu gaakubye ggeeti.

Emmotoka emu n'edduka. Endala ekika kya Wish UBE 808F yabaddemu ababbi bataano abaavuddemu ne badduka nga bwe bakuba amasasi.

 

 

Abaserikale baabagobye nga nabo bwe bakuba amasasi wakati mu bunkenke obwasaanikidde ekitundu.

Bakira abatuuze bagwa kkava, abalala ne beesibira mu nju nga bboodaboda bwe zeetawula okudduka ekibabu nga zifuuwa ehhombe. Omubbi omu Dick Mugalu baamuttidde kumpi ne ggeeti.

Omulala Ismael Segirinya baamusse yeesozze olusaalu ate Lameka Mayanja yaddukidde mu kaabuyonjo y'omutuuze era mwe baamuttidde.

Omubbi omulala teyategeerekese mannya, amasasi gaamukubye adduka okuyingira mu lusaalu. Bonna baabadde ne densite.

Akulira poliisi y'e Mutundwe, Shaban Mugenyi yategeezezza nti yakozesezza essimu y'omubbi eyattiddwa Mugalu n'akubira mukazi we. Ono ye yamubuulidde nti abattiddwa babeera Bukasa - Muyenga.

Emisana bavuga kasiringi (break-down). Omubbi omulala yadduse n'ebisago n'emmundu ye.

Abaserikale baanunudde emmundu emu okuva ku babbi. Ssentebe wa LC1 Kigagga, Paulo Walakira yagambye nti obumenyi bw'amateeka bubadde bususse.

Gye buvuddeko aba LDU batta omubbi eyazingiza omuwala Rita Namayanja n'amunyaga.

Okutta ababbi eggulo, kuddiridde ekiragiro kya Museveni eri poliisi kye yayisa mu Maj Gen Sabiiti Muzeyi bakole ku bamenyi b'amateeka.

Kawagga yagambye: Okutta ababbi e Mutundwe tutandise butandisi. Tujja kubalumba yonna gye bali tubattireyo. Twagala abantu balye Ssekukkulu mu mirembe.

 ensite yomu ku battiddwa Densite y'omu ku battiddwa.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...