TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ensonga lwaki olina okugula amangu ebya Ssekukkulu

Ensonga lwaki olina okugula amangu ebya Ssekukkulu

Added 12th December 2019

EBBUGUMU lya Ssekukkulu lyeyongedde okusituka mu Bannakampala, abagula ebintu bwe batandise okujjula mu maduuka ne mu butale obuliwo naddala obutunda engoye.

 twemuluOmuyimbi Carol Nantongo ng’akebera ekiteeteeyi.

twemuluOmuyimbi Carol Nantongo ng’akebera ekiteeteeyi.

Bw'otuuka mu gamu ku maduuka gatimbiddwa amatiribona ekiraga nti Ssekukkulu eyingiddewo.

Wabula abasuubuzi nabo bali mu kulaajana nga bagamba nti abaguzi tebannajjumbira bulungi olw'embeera y'obwavu.

Wadde nga tusemberedde ennaku zino enkulu, ebbeeyi y'ebyamaguzi ebadde tennapaaluuka nnyo nga n'abamu ebintu bakyatunda bbeeyi layisi mu ngeri y'okusikiriza abaguzi.

Kyokka kigambibwa nti kino kya kaseera buseera balindiridde nnaku ezisembayo batandike okweramula nga tewali abakuba ku mukono. Abaagala okugula ebyokwambala n'ebintu ebirala ebyokukozesa ku Ssekukkulu temulinda wiiki ejja.

Engoye, engatto, ebyokutimba, emmere n'ebirala ebikozesebwa mu ggandaalo lya Ssekukkulu biyiiriddwa mu butale n'amaduuka ate ng'ebbeeyi tennaba kulinnyisibwa nnyo.

Omuyimbi Carol Nantongo y'omu ku bakedde okwegulira ku bya Kulisimansi. Twamuguddeko e Kansanga ng'alonda byakwambala ku Ssekukkulu.

"Nze sigula ngoye kubanga lunaku lukulu naye nga bw'omanyi abakadde n'abaana bo baba basuubira okubagulirayo ebipya kye kino kyendiko. Ngulira ku maama ne baganda bange bye banacakaliramu mu ggandaalo lya Kulisimansi." Nantongo bwe yagambye.

Yategeezezza nti alina bajeti ya kakadde kamu ze yateekateeka okugula engoye n'ebirala eby'okukozesa era kati atandise okusaasaanya.

Bwe yabuuziddwa lwaki akedde okugula ebintu yazzeemu nti; "Ebyange obimanyi, olumu obudde bumbula kati bwe sigula kati nnyinza okulemererwa kubanga mbeera mu kuzunga na bya miziki."

Ono era agamba nti olw'ebigwa bitalaze ayinza okufuna ebizibu ssente z'okugula ebya Kulisimansi n'azikozesa.

Kale okugula kati yeewala mbeera efaanana nga eno. Yayongeddeko nti "Nakoowa embeera eyakavuyo olaba kati Kampala mu bifo ebimu tayitikamu ate we tunaatuukira wiiki ejja oba nga tuyingidde mu nnaku z'omwezi 20 kinaabeera kitya. Leka nze mbigule nga buikyali sirina galumba kavuyo ka mu kibuga."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...