TOP

Kkooti egobye omusango gwa Besigye

Added 12th December 2019

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza ku bwapulezidenti gy'aba awaaba emisango abalamuzi bwe babadde bagoba omusango gwe yatwalayo ng'awakanya obuwaayiro obuli mu 'penal cord' poliisi bw'ekozesa okukwata n’okuvunaana abantu ababeera beekalakaasa.

Abalamuzi bataano abakulembeddwamu Kenneth Kakuru bagambye nti Besigye bwaba yagaana okukkiriza ebyava mu kkooti ey'okuntiko mu 2016 nti Museveni yawangula akalulu kitegeeza nti yayisaamu kkooti amaaso era kati abalamuzi basobola kumuwuliriza singa abeera alopeddwa sossi ye okuloopa.

Bagambye nti Besigye azze akyogera lunye nti  Museveni entebe y'obwapulezidenti agirimu mu bumenyi bwamateeka ekitegeeza nti kkooti n'abalamuzi Museveni b'azze alonda nabo bye bakola tebiri mu mateeka nga mu mbeera eno Besigye tasobola kujja eri abalamuzi abakola ebitali mu mateeka n'abasaba okuwulira omusango gwe.

Bagaseeko nti Besigye alina kuvunaana gavumenti gyakiririzaamu nti eriwo mu butuufu era mu mateeka naye engeri gyeyerayiza nalonda kabineti ye n'olukiiko olukulu kitegeeza nti gavumenti eriko kati tagikkiririzaamu era tasobola kugivunaana kubaako nsobi yonna gyekola.

Abalamuzi banyonyodde nti okugenda mu maaso n'okuwulira omusango gwa Besigye ng'ate byebakola kuye tebiri mu mateeka kubanga balondebwa pulezidenti atali mu mateeka byonna byebaba basazeewo kubeera kumala budde eri ye era wano webasinzidde okugoba omusango gwe.

Besigye yaloopa omusango guno mu 2011 nga ayagala obutudu 65 ne 66 poliisi bweyeyambisanga okumukwata n'okumuggulako emisango bweyali mu kwekalakaasa kwa walk to work buszibwemu kubanga bukontana n'eddembe ly'okutambula ekyere n'okukola byoba oyagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.