TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bba wa Julie Angume talabiseeko mu kwanjula: Bataddewo kifaananyi kye omukolo ne gugenda mu maaso

Bba wa Julie Angume talabiseeko mu kwanjula: Bataddewo kifaananyi kye omukolo ne gugenda mu maaso

Added 13th December 2019

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu bakadde.

Julie n'ekifaananyi kya bba Ssekajugo

Julie n'ekifaananyi kya bba Ssekajugo

Abooluganda, abako n'abeemikwano baakedde mu ssanyu okwaniriza Sekajugo mu bitiibwa e Kiboga ku Lwokuna ng'ayanjulwa mu maka ga kitaawe wa Julie ayitibwa Ronald Ssemugga. Baakomye ku munaabo bwe baakabatemye nti omuko yabadde takyazze.

Ebintu byonna nga bitambudde, ekiseera kyatuuse ssenga ow'ensonga n'asituka okulaga omuko, kyokka abagenyi naddala ab'oku kyalo ababadde tebakirabangako, kyabaweddeko bwe baalagiddwa ekifaananyi kya Sekajugo.

 

Ekifaananyi kyabadde kikwatiddwa muganda wa Sekajugo era abantu olwakirabye ne batandika buli omu okwogera by'asanze.

Bangi baabitapuse nga Sekajugo bwe yeekubye Julie ku ssaawa esembayo wabula Bukedde bwe yatuukiridde Julie yategeezezza nti bakkaanya ne bba nti tajja kusobola kujja olw'emirimu gyaliko.

 

Sekajugo akolera mu Budaaki nti era mu kusooka bakama be baali bamukkirizza okujja kyokka oluvannyuma ne bamugaana olw'emirimu. ‘‘Ndowooza Abazungu emikolo gy'obuwangwa bwaffe tebagimanyi naye embaga bw'eneetuuka ajja kukomawo mu Uganda,'' Julie bwe yategeezezza.

Yannyonnyodde nti kino ab'eηηanda n'emikwano baakitegeera naddala nnyina era ne bamutegeeza nti tebafaayo kasita afunye omusajja.

alt=''

 

Ng'omukolo tegunnabeerawo, Julie yasoose kukyusa linnya lye n'agattako erya ‘The Heart Beat' eryamulondeddwa Sekajugo. Omukolo gwabaddeko abayimbi ne basereebu abawera.

Eby'okwanjula ekifaananyi byasooka ku muyimbi Bella mu 2004, bba bwe yalemwa okudda e Uganda era emikolo gyali gigenda mu maaso n'asindika obubaka nga yeetonda.

 

Munnakatemba Jamira Kalungi eyasuulawo Chris Evans naye ebintu byamutabukako n'akyaza ekifaananyi mu bakadde be nga bba, Fahad Kulumba alemereddwa okulabikako kyokka mu kwanjula bakama be baamukkiriza okuva mu Amerika n'abaawo.

Ekyewuunyisa, Jamira mukwano nnyo gwa Julie era ye yasoose okubeera metulooni we ku mukolo gwa ‘Intro Shower' ogwakulembedde okwanjula wabula yakyusiddwa luvannyuma ne bassaawo muganda wa Julie amanyiddwa nga Janat Kirungi.

alt=''

 

Abaakitegeddde baagambye nti Jamira yatidde kumwogerako ng'eyamuwadde amagezi g'okwanjula ekifaananyi kubanga ebyo yabimanyiira.

Wabula ensonda zitegeezezza nti Sekajugo yazze mu Uganda era yalabiddwaako ku Lwokusatu mu Kampala era abamu ku baagenze mu kwanjula beewuunyizza ekyamulemeseza okugenda ku mukolo gwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...

Pulogulaamu y'ebigezo bya P...

GAVUMENTI efulumizza kalenda y’amasomero. Abayizi ba P7, S4 ne S6 bwe banaddayo nga October 15, olwo UNEB etandikirewo...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo guzzeemu okutojjera

Speaker Kadaga asanyukidde ...

OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by’emizannyo olw’ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe...