TOP

Obwavu buswaza - Katikkiro Mayiga

Added 13th December 2019

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obwavu kye kintu ekisinga okuswaza n’okuweebuula ekitiibwa ky’Abaganda ku mulembe guno.

 Minisita w’ebyobulimi e Mmengo Kakomo ( ku ddyo) ng’anyonnyola Katikkiro Mayiga (amuddiridde). Ku kkono ye Magala omwami atwala essaza ly’e Butambala.

Minisita w’ebyobulimi e Mmengo Kakomo ( ku ddyo) ng’anyonnyola Katikkiro Mayiga (amuddiridde). Ku kkono ye Magala omwami atwala essaza ly’e Butambala.

Bino yabyogeredde ku mbuga y'eggombolola Ssabawaali Bulo mu ssaza ly'e Butambala nga December 10, 2019.

Yagambye nti kino kiteekwa okumalibwawo bunnambiro ng'abantu beekwata empisa y'okukola obutaweera n'okwenyigira mu mirimu Buganda gy'erinako enkizo ng'okulima emmwaanyi. "Tetwagala Buganda 

ejoogebwe. Muyimba nti ekitiibwa kya Buganda kyava dda, munaakikuuma mutya nga temulina wadde ekikumi mu nsawo?

Bakuwa batya 10,000/- n'olonda omuntu gw'otoyagala. Okwo kwe kutujooga nze nga Katikkiro wa Buganda kwe ssaagala kulaba! bannange twerwaneko," Katikkiro Mayiga bwe yakubirizza abantu.

Yasabye Abaganda okwebeereramu nga beekolera emirimu gyabywe basobole okuzza Buganda ku ntikko. Yabadde ku kyalo Kifampa ew'omulimi w'emmwaanyi ehhanda, Leonardo Lukyamuzi.

Yagambye nti obumu ku bunafu obuli mu Africa bwe butaddaabiriza mirimu gitandikiddwa wabula okulinda ekintu kimale okuggwaawo baddaabirize ebyonoonese.

Katikkiro yasabye abaami ba Kabaka n'abo abalina obuvunaanyizibwa okubeeranga ekyokulabirako nga minisita omubeezi ow'ebyobulimi e Mmengo, Hajji Amisi Kakomo bw'akola.

Ku Butawuka alinako ffaamu y'emmwaanyi eya yiika ezisoba 23, olusuku olusoba mu yiika 10 n'ebirala. Minisita atwala ettaka, ebyobulimi ne bulungibwansi, Hajjati Mariam Mayanja yategeezezza ng'Obwakabaka bwe bwamalirizza okuwandiisa kkampuni eyitibwa Mmwaanyi Terimba Ltd ng'eno egenda kugula emmwaanyi ezirimiddwa abantu.

Yeebazizza Katikkiro olw'okukubiriza buli ssaza okufuna omulimisa omukugu ayambe abalimi. Omwami w'essaza lino, Hajji Sulaiman Magala yategeezezza nti, abantu b'ekitundu bawulize eri Obwakabaka era baakugenda mu maaso n'okunyiikirira enteekateeka zaabwe.

Omukolo guno gwe gwakomekkerezza omwaka gw'emmwanyi 2019. Okulambula emmwaanyi kwetabiddwaako bannabyabufuzi omwabadde Muwanga Kivumbi, Lydia Mirembe, Bavekuno Kyeswa nga ye Ssentebe wa disitulikiti y'e Butambala, Aisha Kabanda, Rashidah Namboowa, Ibrahim Batemyetto n'abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...