TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Kirumira afunye ku buwerero! Asekera mu kikonde

Omugagga Kirumira afunye ku buwerero! Asekera mu kikonde

Added 13th December 2019

Omugagga Kirumira asekera!!

 Omugagga Kirumira

Omugagga Kirumira

Kino kiddiridde Minisita w'obutebenkevu Gen. Elly Tumwine okukunya Lt Gen Charles Angina n'abapoliisi ababadde bawadde abazimbi obukuumi nga tulakita egaziya ekkubo erigenda ewa Dr. Khingi agugulana ne Kirumira ku ttaka n'abalagira okukomya okusenda ettaka mbagirawo!

Tumwine abadde omukambwe ayombesezza Angina n'abapoliisi ababaddewo na'abalagira okukomya mbagirawo okusenda ettaka n'okweyambisa amagye ne beeyingiza mu busongasonga obutono obwandigonjoddwa mu mirembe awatali kusika muguwa!

Bino abyogedde bw'abuuza Gen. Angina akana n'akataano lwaki baaleese tulakita mu matumbi budde okusenda bwe kiba nga kye baabadde bakola kiri mu mateeka!

Ayongedde okumukunya n'amubuuza ebbaluwa za KCCA ezibalagira okusenda n'agamba nti zino ensonga tezisaana kuleetamu ba magye, KCCA ye yandibadde eteera abaserikale baayo ne bakola ogwabwe so ssi magye!

Kinajjukirwa nti gye buvuddeko abajaasi ba miritale baakuba Kirumira mu lutalo lw'ettaka okuliraana woteeri ya Kirumira eya Hotel International e Muyenga. Kyokka ne Kirumira n'abalwanyisa ng'ali ne mukyala we, Susan Kirumira.

Ebisingawo:

Kirumira bamukubye ne bamwambula engatto

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...