TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. yaakweddiza obuyinza bw'ekisaawe ky'e Nakivubo

Gavt. yaakweddiza obuyinza bw'ekisaawe ky'e Nakivubo

Added 13th December 2019

GAVUMENTI egenda kukyusa etteeka erifuga ekisaawe ky’e Nakivubo, ababadde bakiddukanya baggyibweko obuyinza bw’okukitunda oba okukigabako liizi bwe babadde nabwo mu tteeka eririwo.

Okusinziira ku akola nga omwogezi wa gavumenti, Dennis Katungi enkyukakyuka zino zireeteddwa n'okwongera okunyweza enzirukanya y'ekisaawe kino kisobole okuzimbibwa n'okukikulaakulanya obulungi kituukane n'omutindo gw'ebisaawe ebirala ebiri mu nsi yonna.   

Ekisaawe kino kikulaakulanyizibwa omusuubuzi Hajji Hamis 

Kiggundu amanyiddwa nga Ham eyazimbako amaduuka okukyetooloola ng'ate wakati ategeka kukizimba mu ngeri ey'omulembe.   

Baminisita baagala kukyusa tteeka erimanyiddwa nga ‘' Nakivubo War Memorial Stadium Trust Act, 1953''.   

Era olukiiko lwa baminisita lwasazeewo emikolo gy'okukuza olunaku gavumenti eno lwe yajja mu buyinza olubaawo January 26 gibeere ku Ibanda Core PTC e Ibanda mu Ankole.

Era Uganda yawangudde n'eby'okutegeka olukuhhaana lwa siriimu n'endwadde z'obukaba ICASA 2021 olunaabaawo wakati wa December 6 -December 11 ,2021.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...