TOP

Tamale Mirundi agobye abamulambula mu ddwaaliro

Added 13th December 2019

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu ku be yagobye mulimu ne bakyala be abalala ababiri okuli Sylvia Namayanja ow’omu maka g’e Kyengera n’omulala (amannya gasirikiddwa).

 Mirundi

Mirundi

Ensonda mu ddwaaliro e Kisubi zaategeezezza nti, Mirundi yabalagidde obutalinnyayo yadde okumutwalira ku kyokulya.

Tamale yakkirizza mukyalawe omukulu yekka Juliet Nassimbwa ow'omu maka g'e Najjanankumbi era y'abadde amujjanjaba okutuusa lwe basazeewo okumwongerayo. 

Maama wa Tamale, Molly Namatovu eyava mu kyalo e Kaliisizo n'ajja ewa mutabani we Ssali (mukulu wa Mirundi) kigambibwa nti ye yaabadde akola ng'omutabaganya okulaba nga bawala be bonna (bakyala ba Mirundi) bafuna amawulire agakwata ku bbaabwe n'embeera gy'alimu.

Ab'eddwaaliro ly'e Kisubi  baaganyi okubaako kye boogera naye ensonda zaategeezezza nti Mirundi yatuusiddwa mu ddwaaliro wiiki ewedde nga mugonvu ddala ng'asituliddwa busitulwa.

Omubiri gwabadde mugonvu ate nga tegulina mazzi gamala era abadde assibwako amacupa musanvu buli lunaku.

We bwakeeredde ku Lwokutaano ng'omubiri guzzeemu amaanyi era ng'asobola n'okwogera ku ssimu yadde eddoboozi lyabadde likyali wansi ddala okusinziira ku bamuli okumpi.

Guno omulundi gwakubiri nga Mirundi atawaanyizibwa obulwadde. Omwaka oguwedde yalwala eddoboozi ne lifa nga takyasoboka kwogera.

Amaka g'obwapulezidenti ku mulundi ogwo gaamuwa obukadde 10 n'atwalibwa e Nairobi n'ajjanjabibwa eddoboozi ne litereera.

Mirundi munnamawulire mutendeke era y'omu ku bantu gwe basinga okwettanira  n'okugoberera ku leediyo ne ku mikolo olw'ebigambo bye.

Yeegulira nnyo erinnya olw'engeri gy'annyonnyolamu ensonga z'ebyobufuzi mu ngeri eyaabulijjo ate ennyangu. 

Ebbanga ery'emyaka omunaana gye yamala nga ye mwogezi wa Pulezidenti Museveni, agamba nti gyamuyamba okumanya ebintu bingi ebigenda mu maaso mu bukulembeze era okumanya okwo kw'akozesa okwanukula buli kibuuzo kye bamwolekeza.

Emyaka esatu egiyise yafuna ebizibu n'amaka g'obwapulezidenti n'aggyibwa mu kifo ky'okuba ow'amawulire wa Pulezidenti n'afuulibwa omuwabuzi we.

Bino byonna yabissa ku baayita ‘bamafia' era buli leediyo ne ttivi kw'agenda tavaako nga tabalangidde.

Azze ayogera ebintu ebisesa abantu abalala ne bamwewuunya omuli n'okukirangirira nti bw'alifa, bamuziikanga ayimiridde mu ntaana ye. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...

Masaka City etongozeddwa wa...

WADDE nga wazzeewo okusika omuguwa mu kutongozebwa kw'ekibuga Masaka ekyafuuliddwa CITY tekirobedde bakulembeze...