
Akulembedde ye Godfrey Kuruhira akulira abakozi e Luweero ng'alambula emidaala gy'abakadde bwe baabadde bakuza olunaku lwabwe.
BYA JAMES MAGALA
ABAKADDE mu Disitulikiti y'e Luweero balaajanidde Pulezidenti Museveni okubayamba ku nsonga y'amalwaliro mu disitulikiti eno nga bagamba nti bakaluubirizibwa okufuna obujjanjabi olw'amalwaliro agaliyo obutaba na bikozesebwa bimala ko n'abasawo abatono.
Bano baasinzidde mu kukuza olunaku lwabwe ku mikolo egyategekeddwa e Kasaala mu Ggombolola y'e Butuntumula ne bategeeza nga bwe bakaluubirizibwa okutambula engendo empavu okutuuka ku malwaliro kyokka nga nayo oluusi batuukayo nga teri bikozesebwa.
Abakadde bano baasabye Pulezidenti okubateera eddagala mu malwaliro naddala erikola ku birwadde omuli sukaali ne Puleesa bye bagamba nti bye bisinga okubasumbuwa ko n'okubongera ku basawo abakugu.
Faaza George Previde, eyakulembeddemu mmisa ey'okusabira abakadde ku mukolo guno, yalaze obwennyamivu olw'ebikolwa eby'ekko ebisusse mu bavubuka omuli obubbi n'obukumpanya n'asaba abakadde okukomya okwenyooma wabula baveeyo nga bakozesa obukulu bwabwe okulungamya abavubuka.
Mu ngeri y'emu ye Josephine Kaleebi akulira Reach Out Mbuya Parish HIV/AIDs Intiative abaategeee emikolo gino yawadde abakadde amagezi okwenyigira mu mirimu egitali gimu nga bakozesa omukisa gw'abantu ababayambako baleme kutwalibwa nga bakateeyamba kyokka nga baliko obulimo obutonotono bwe bayinza okukola.
Ku lwa Gavumenti, akulira abakozi e Luweero, Godfrey Kuruhira, eyabadde omugenyi omukulu,yagambye nti waakukola kyonna okulaba ng'abakadde mu Luweero baweebwa enkizo mu buli kimu.