
Ssaka Wamala (ku ddyo) kkansala w'omuluka gwa Bwaise III, Denis Odoch DPC w'e Kawempe, John Kiconco eyakiikiridde RPC, Rashid Kikulwe amyuka DISO Kawempe nga bali mu lukiiko mwe baasisinkanidde abattakisi abagugulana e Kawempe.
Bya REGINAH NALUNGA
NE ROSEMARY NAKALIRI
ABEEBYOKWERINDA basisinkanye ebiwayi by'abavuzi ba ttakisi abagugulana olwa ppaaka e Kawempe.
Kino bakikoze nga baagala abantu okutuuka ku Ssekukkulu nga tebalina kibatataaganya naddala mu nsonga z'ebyentambula.
Poliisi, amagye n'ebitongole ebirala baayise olukiiko okulaba engeri y'okunyweza ebyokwerinda naddala mu biseera bino eby'ennaku enkulu mu munisipaali y'e Kawempe.

Okugugulana kuli wakati w'abattakisi abakolera mu ppaaka ya Ddembe Taxi Park (ppaaka enkadde) ne bannaabwe abaabeeyawulako ne batandikawo eyaabwe eya Kaas Taxi Park.
Ppaaka empya eri mu kifo ky'omugagga w'e Bwaise, Joseph Semango Ssemakula nnannyini Kaas Club.
Mu lukiiko luno abattakisi baabategeezezza nga ppaaka zombi bwe zigenda okukola wabula abamu ne bakiwakanya.Gye buvuddeko, KCCA yayimiriza ppaaka empya ng'okulwanagana kususse.
Ppaaka zombi ziriraanaganye ng'oluguudo lwe luzaawula, zitikka emmotoka ezidda e Nabweru, Katooke, Lugoba- Kawempe, Kisimu, ne Wamala.
Shafik Tera ssentebe wa ppaaka ya Ddembe yagambye nti, tebasobola kukkiriza kubayiikiriza kutikka basaabaze b'omu bitundu nabo gye bakolera.
Wabula ekiwayi ekirala ekikulirwa Joseph Ssebukalu ssentebe wa ppaaka ya KAAS baagambye nti balina okukolera mu kifo kyabwe ekyabaweebwa Semango kubanga bonna ekigendererwa kyabwe kunoonya ssente.

Ssebukalu yayongeddeko nti, ekimu ku byatuggya mu ppaaka enkadde (eya Ddembe), zaali ssente zaffe obukadde 140 ezaaliibwa bannaffe abaali mu bukulembeze ebiseera ebyo.
Bwe twagezaako okubasaba embalirira, badda mu kututiisatiisa era wano we twava ne twekubira enduulu eri ofiisi ya meeya Emmanuel Sserunjoji.
Mu nkiiko ezenjawulo Sserunjoji ze yajja atuuza, bannaffe baalemererwa okutulaga embalirira n'ensaasaanya ya ssente zaffe eza Welfare ze twali tuzze tusonda okuva mu 2014 we twatandikira ppaaka ya Ddembe.
Wano we twaggya ekirowoozo ne twerondamu olukiiko lwa bantu mukaaga okuli, nze, Hassan Kato, David Ssenfuma, Ronald Kayongo, Med Nyanzi ne Haruna Kaweesa okutandikawo ppaaka eyaffe.
Tera yagambye nti bbo si bamativu n'ekyasaliddwaawo okukkiriza ppaaka empya okuddamu okukola kyokka ng'ensonga zibadde zikyali mu lukiiko lwa KCCA olwateekebwawo okunoonyereza ekivaako okubalwanya.
"Baddereeva ne bakondakita bange bazze bakubwa bakanyama b'omugagga Ssemango n'emisango giri ku poliisi e Kawempe wabula nga tetuyambibwa.
Neewuunya obwangu poliisi bwe yakozesezza okuteeka mu nkola ekiragiro ky'okukkiriza abatutigomya okuddamu okukola.
Lwaki eky'okuggulawo ppaaka kissibwamu amaanyi mangi?, ng'ate ffe bwe tulumbibwa, poliisi terabikako?.
Tusaba basooke balinde lipooti y'olukiiko lwa KCCA olwassibwawo okunoonyereza ku nsonga yaffe efulumizibwe kuba tuli beetegefu okukkiriza kyonna ekinaaba kisaliddwaawo.
Abamu ku beetabye mu lukiiko kwabaddeko, Denis Odoch DPC w'e Kawempe, John Kiconco eyakiikiridde RPC wa KMP North, Rashid Kikulwe amyuka DISO Kawempe, Maj. Emma Mutezi okuva mu CMI, Fredrick Ayimbisibwe ow'ebikwekweto mu KMP North ne Ssaka Wamala kkansala w'omuluka gwa Bwaise III.
Olukiiko lwasoose kucankalana ng'ekiwayi kya Tera kiwakanya ekyasaliddwaawo nga tebasoose kwebuuzibwaako.
Baatuuse n'okwagala okuyiwa olukiiko kyokka poliisi yabaddewo okubatangira okukola effujjo.
Kikulwe ng'ono ye yakubirizza olukiiko, yagambye nti olukiiko luno lwayitiddwa nga lwa bakulembeze bokka ku njuyi zombi kyokka kyababuuseeko okutuuka nga bajjidde mu bibinja.
Yagasseeko nti, kyasaliddwaawo okutandika n'ekiseera ky'ennaku enkulu, ppaaka empya nayo yaakuddamu okukola kubanga obwetaavu weebuli.
Maj. Emmanuel Mutezi akiikirira ekitongole ekikesi mu Kawempe, yagambye nti, bavuddeyo nga ttiimu ku nsonga za ppaaka ekaayanya abattakisi ku lw'okusaba kw'ebiwayi byombi. "Tetwagala kuddamu kuwulira bikolwa bwa kuyiwa musaayi. Yalabudde nti omuvuzi wa ttakisi yenna anaakola effujjo mu kiseera nga ppaaka egguddwaawo waakukangavvulwa".

Semango nnannyini kifo awali ppaaka empya, yaweze nti mu bwangu nnyo ekifo kye kyakutandika okukola kubanga emisoso n'ebyetaago ebyamusabibwa yabituukirizza.
Wamala kkansala mu muluka gwa Bwaise III, yategeezezza nti, ensonga z'abattakisi ziri mu kkanso "naffe abakulembeze twebuuza bye basinziddeko okusalawo kubanga lipooti y'olukiiko olwassibwawo ebadde tennafulumizibwa".