TOP

Mukyala wa Lyto Boss asulirira kuzaala

Added 14th December 2019

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

 Lyto Boss nga awuliriza

Lyto Boss nga awuliriza

Banange ebya ddala kasamba! Olwo no nga Lyto Boss ali ku lubuto lwa mukyala we Cissy Nanyonga awuuliriza,  tekyamumalidde kwe kuyita mutabani we naye ajje awulirie.

Ye Nanyonga kate afe essanyu banne bwe  bamutegekedde akabaga akamwagaliza okuzaala obulungi n'okwaniriza bbebi(Baby Shower).

 issy nga asala keeki Cissy nga asala keeki

Akabaga kano kabadde ku wooteeri ya Brifsk mu kiro ekikesezza leero, baamuleese tategedde nga bamulimbye nti balina omukolo gwe bagendako kyokka kyamubuuseko okutuuka mu kifo kino nga alaba mikwano gye n'ab'oluganda bokka be bamwaniriza n'okumwagaliza okusumulukuka obulungi.

Wakati mu ssanyu yeebazizza mikwano gye okumulowoozako ate mu mbeera ey'enjawulo ne yeebazza Lyto Boss okumwagala ennyo.

 yto oss issy ne mutabani wabwe Lyto Boss, Cissy ne mutabani wabwe.

Mukwanukula Lyto Boss amusuubiza nga bwatagenda kumugattako mukyala mulala nga abasajja abalala bwe bakola era nategezezza nga okuva bwe yafuna Cissy obulamu bwe bwatereera.

Lyto Boss ne Cissy bateekateeka kuzza mu mutabani  wabwe gwe balina era eky'okuba nti omwana gwe bagenda okuzaala muwala kyacamudde nnyo Cissy bakira agamba nti mutabani wange agenda kufuna mwanyina
gwanazaanya nga naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...