TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Added 15th December 2019

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

 Allan Okello nga bamukwasizza emmotoka ekirabo ky'omuzannyi asinze anne omwaka guno

Allan Okello nga bamukwasizza emmotoka ekirabo ky'omuzannyi asinze anne omwaka guno

SSITA wa KCCA FC awonye okulya enfuufu oluvannyuma lw'omuwangula kapyata bwe yalondeddwa ng'omuzannyi w'omwaka 2019.

Allan Okello yamezze munywanyi we Mustafa Kizza bwe bazannyira mu kirabu y'emu ne Bright Anukani owa Proline FC ku ngule y'omuzannyi w'omwaka 2019 omusajja ku mukolo makeke ogwabadde ku Speke Resort Hotel e Munyonyo.

Ku ngule Allan Okello yawanguliddeko emmotoka kapyata ekika kya Subaru Forester nnamba UBG 796G

Ku ya bawala omuteebi wa Kawempe Muslim era kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eyabawala abali wansi w'emyaka 17 Juliet Nalukenge  yamezze bane Fauzia Najjemba ne Hasifa Nassuuna ku ngule y'omuzannyi w'omwaka bwatyo naye naweebwa kapyata ekika kya Subaru Forester UBG 998G

 Cranes ya 1978 esiimiddwa;

Uganda Cranes eyatuuka ku fayinolo ya 1978 n'ekubwa Ghana nayo yasiimiddwa era neweebwa ekirabo ekyakwasiidwa abali abazannyi Ashe Mukasa, Abbey Nasur, Paul Ssali ne  Barnabas Mwesiga ababaddewo ku mukolo.

Abawanguzi Abalala mu bujjuvu;

Omuzannyi asinga okwagalwa ebweru; Abdul Lumala

Omuzannyi wa Beach Soccer; Sulaiman Ochero

Omuzannyi omuto; Gavin Kizito   

Omutendesi w'omupiira gw'abakazi; Ayub Khalifa Kiyingi

Presidential award; Majid Musisi

Fair Play; URA FC

Ekibiina/Memba wa FUFA asinga okukola; Uganda Beach Soccer Association

Abawagizi abasinga; Acholi Province

Ttiimu y'abalenzi ey'omwaka; Joel Mutakubwa, Paul Willa, Mustafa Kiiza, John Revita, Halid Lwaliwa, Shafik Kagimu, Viane Sekajjugo, Bright Anukani, Allan Okello, Mike Mutyaba ne Allan Kayiwa

Ttiimu y'abawala ey'omwaka; Daisy Nakaziro, Viola Namuddu, Naziz Florence, Shadia Nankya, Riticia Nabbosa, Marion Amangat, Phiona Nabbumba, Fauzia Najjemba, Juliet Nalukenge, Maureen Kinavoudori ne Hasifa Nassuuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...

Henderson ayolesezza omutin...

OMUTINDO Dean Henderson gwe yayolesezza mu mupiira gwe ogwasoose mu mujoozi gwa ManU gwongedde okuteeka David De...