TOP
  • Home
  • Agawano
  • Mmengo n'Abasiraamu bakukkulumye ku kabineeti empya

Mmengo n'Abasiraamu bakukkulumye ku kabineeti empya

Added 16th December 2019

MMENGO eyogedde ku nkyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakoze mu baminisita n’egamba nti Bannayuganda bajja kusanyuka ssinga abaalondeddwa banaatuukiriza obuvunaanyizibwa obubawereddwa.

Mu nkyukakyuka, baminisita bana abava mu Buganda; Hajati Jannat Mukwaya , Haji Abdul Nadduli , Ida Erios Nantaba ne Charles Bakabulindi baasuuliddwa, abantu ab'enjawulo kye baatapuse nti Buganda tefunyee mu nkyukakyuka zino kubanga abapya abalondeddwa yafunyeemu Judith Nabakooba yekka mpozzi ne Gen. Edward Katumba Wambala eyafuuliddwa minisita omujjuvu.

Omwogezi wa Mmengo, minisita Noah Kiyimba, yagaanyi okwogera ku kya Buganda okufuna oba okufiirwa mu nkyukakyuka zino ng'agamba nti Mukama waabwe y'amanyi ensonga kwe yasinzidde okusuula be yasudde n'okuleeta abapya.

Abaalondeddwa, Kiyimba yagambye nti balina okusoomoozebwa okw'okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabakwasiddwa abantu basobole okufuna mu buwereeza bwabwe kuba ebizibu bingi ebiriwo mu ggwanga ebyetaaga okukolebwako.

Yawadde ekyokulabirako nti amataba gatta abantu, amalwaliro tegaliimu ddagala n'ebirala byonna ng'abantu eriiso balitunuulizza balondeddwa kulaba oba banaabyehhanga.

ABASIRAAMU BAKIISE ENSINGO

Bannaddiini nabo bavuddeyo ku nkyukakyuka zino, abamu ne bazisiima kyokka Abasiraamu ne bakukkuluma nti n'abantu baabwe ab'olubatu be babadde nabo ku kabineti nabo babasudde ne bagamba nti ensonga bazirekedde Allah.

Omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde, Haji Nsereko Mutumba yeebuuzizza Abasiraamu kye baakola gavumenti eno n'agamba nti amawulire ag'okugobwa kwa Haji Abdu Nadduli ne Hajati Janat Mukwaya gaabakubye wala.

Nsereko yagambye nti wadde Abasiraamu bongedde okusoma nga n'obululu Pulezidenti babumuwa mu bungi kyokka eby'okubawa ebifo mu gavumenti bibyesambye.

N'agamba nti Abasiraamu si bamativu n'ensonga eno. Yategeezezza nti abantu abawa Pulezidenti amannya g'abalondebwa ku bifo mu gavumenti nabo balina okwekenneenyezebwa kuba kirabika tekuli Basiraamu y'ensonga lwaki teri ayogerera Basiraamu

‘'Bannaffe ab'eddiini endala tuwulira Pulezidenti abeebuuzaako nga tannalonda ffe tetumanyi lwaki tetwebuuzibwako'' Nsereko bwe yagambye. N'asaba Pulezidenti alonde omuwabuzi we ku nsonga z'Obusiraamu.

Omumyuka wa Viika w'e Namirembe Rev. Samuel Muwonge yagambye nti alina essuubi nti abaalondeddwa bajja kuyamba okusitula obulamu bwa Bannayuganda.

N'agamba nti Minisita Beti Kamya mukyala Mukristaayo era alina essuubi nti ajja kuyamba okulwanyisa ebizibu ebiriwo ku ttaka naddala ekibbattaka ekikudde ejjembe mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu.

Yayongedde n'abantu nga Gen. Katumba Wamala naye musajja Mukristaayo era naye alina essuubi nti ajja kulwanyisa ekizibu ky'enguudo embi n'amataba agayitiridde okutataganya abantu.

Kyokka yagambye nti abavubuka beetaaga okwongerwa mu gavumenti kuba nabo bangi ng'ate bababadde batono mu kabineti. N'agamba nti ayagala obuwereza butuuke ku bantu basobole okuganyul

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...