TOP
  • Home
  • Agawano
  • Atigomya Kampala bamukukunudde Kasawo mu batikkuzi b'amatooke

Atigomya Kampala bamukukunudde Kasawo mu batikkuzi b'amatooke

Added 16th December 2019

ABASERIKALE ba Flying Squad baabadde nga bakomando abayigga abatujju mu kyondo kya Buwarabu bwe baabadde banoonya omusajja agambibwa okuduumira akabinja k’abatemu ababadde batigomya Bannakampala.

 Munomuno ku mpingu.

Munomuno ku mpingu.

Hamidu Ssenyonjo amanyiddwa nga Munomuno, poliisi yamukukunudde Kasawo mu disitulikiti y'e Mukono gye yabadde yeekukumye okuva muganda we Farouq Ssejjemba lwe yattibwa nga balumbye amaka g'omusuubuzi wa sipeeya, Bosco Sserwadda e Kiteezi.

Ekikwekweto ky'okukwata Ssenyonjo kyabadde nga muyiggo gw'abatujju abaatega bbomu e Lugogo ne Kasangati mu 2010. Abawanvu n'abampi b'ekitongole kya Flying Squad nga bayambibwako poliisi y'e Kasangati baasazeeko Ssenyonjo we yabadde amagezi ne gamwesiba.

Abadde yeekukumye okuva mu October lwe baalumba ewa Sserwadda nga tasuubira nti bayinza n'okumugwako nga tategedde.

Ng'omubbi omukujjukujju alinamu ne ku bukodyo obutonotono, Ssenyonjo yabazizza abaserikale n'abayita ku litalaba kyokka yabadde afunya omugongo awete ekoona, omu ku baserikale n'amukuba ttageti ku magulu n'agwa wansi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, Ssenyonjo bwe yabadde adduka, baamukubye ebyasi mu magulu era kati anyiga biwundu.

Yagaseeko nti, baamukutte ne munne omulala Hamidu Ddamba bwe bateeberezebwa okuba nga baalumba amaka ga Sserwadda. Poliisi y'e Kasangati yaggulawo fayiro CRB: 256/2019 oluvannyuma lw'okulumba amaka ga Sserwadda n'okuttibwa kwa Ssejjemba.

Bwe baayingira amaka ga Sserwadda, basooka kutema mukuumi Lauben Mumbere gwe baagwako ekiyiifuyiifu ne bamuggyako emmundu gye beeyambisa nga bayingira mu nnyumba nga kwe bagasse n'ebijambiya.

Okuyingira ewa Sserwadda, baasala ssehhenge ku kikomera nga beeyambisa eddaala lye baggya mu kikomera ekitaliiko ggeeti ekiriraanye amaka ga Sserwadda.

Sserwadda ne mukyala we Brenda Nassaka, baawulira mangu nti, balumbiddwa era baagenda okutunula ku kkamera nga balaba abasajja abambadde obukookolo ne batemya ku poliisi.

Mu bwangu nga poliisi etuuse, ababbi abaali wabweru badduka kyokka Ssejjemba eyali ayingidde munda teyalutonda.

Bwe yali afuluma ennyumba, yeekanga abaserikale era mu kwagala okudduka abuuke ekikomera, we baamukubira ebyasi n'afa nga yeewalula ataase obulamu.

ETTEMU N'OBUBBI BWE BAZZE BEENYIGIRAMU

Ssenyonjo ne banne kigambibwa nti, bakozi ba bikolobero abaludde nga batigomya abantu mu bitundu bya Kampala n'emiriraano ng'akabinja kaabwe, kaduumirwa Ssenyonjo ne muganda we Ssejjemba eyattibwa.

Kigambibwa nti, akabinja kano, ke kaalumba amaka g'omusuubuzi wa sipeeya wa masiini ezisala embaawo, Kibuuka Mikisa ku kyalo Bwotansimbi e Buloba ne bamutema ne mukaze we mu August w'omwaka guno.

Ssenyonjo yakwatibwa ku musango guno n'atwalibwa e Katwe n'akkiriza nti, ettemu eryali likoleddwa yalimanyaako kyokka eby'obubbi yali yabivaamu ng'atunda matooke.

Ono, baamutwala ku kitebe ky'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) wabula n'ayimbulwa.

Nga wakayita ennaku ntono, kigambibwa nti akabinja ke kamu kaalumba omusuubuzi Bosco Baguma asula e Garuga ne bamutema ne bamubbako obukadde 110 bwe yali ava okukola mu Kampala.

Akabinja ka Ssejjemba,nga April 21, 2017, baalumba omusuubuzi Mathias Byamugisha ku luguudo lw'e Salama mu ttumbi ne bamukuba amasasi n'agwa mu buwunga bwe yali atunda mu dduuka.

Milly Byamugisha muka Byamugisha eyattibwa yagambye nti, ku lunaku olwo, baamukubira essimu ng'ali waka ne bamutegeeza nti bba yali atemuddwa era yagenda okutuuka ng'omulambo gulu mu buwunga nga ne ssente ze yali akoze zonna zitwaliddwa. Agamba nti edduuka lyabwe lyali likola okukeesa obudde era bba baamulumba mu kiro.

Harman Ssenkoni amanyiddwa nga Kadogo alina ebbaala ku nkulungo e Kibuye baamulumba September 9, 2016 e Namasuba mu zooni ya Pala ne bamutemaatema ne bamuleka nga balowooza afudde ne bamutwalako mmotoka ye Toyota Prado.

Ssenkoni yagambye nti, mmotoka ye bwe baagibba, yabafiirako ku Kabuusu ne bagisuula ku kkubo abatuuze we baagisanga ne bakubira poliisi we yagiggya.

Ono, alina n'enkovu z'ejjambiya Ssenyonjo n'akabinja ke ze baamulekako nga bamaze okumubba.

Mu 2017 wiiki emu nga baakamala okulumba Byamugisha, bateega Charles Mubiru eyali ava okucakala ne muganzi we ne bamukuba amasasi ng'ayingira ewuwe muganzi we ne bamusobyako kurindi ne bamuleka ku kkubo nga balowooza nti afudde.

Bano era baalumba omubaka wa palamenti (amanya gasirikiddwa) agambibwa nti yali agenze e Makindye mu kafo akamu bamalaaya we beetundira ne bamenya emmotoka ye ne baggyamu ensawo nga bamanyi batutte ssente kyokka mwalimu mmundu.

Omubaka yaloopa omusango ku poliisi y'e Katwe emmundu n'etandika okunoonyezebwa kyokka oluvannyuma ne kizuulibwa nti ye yakozesebwa okutta Mugisha ne Mubiru.

SSENYONJO EMISANA ABADDE

ATIKKULA AMATOOKE

Ssenyonjo kibadde kizibu okumuteebereza nti yandiba omumenyi w'amateeka. Musajja mukozi era mu katale e Kibuye abakoleramu bamwogerako ng'omu ku bakanyama ababadde batikkula amatooke ku mmotoka era poliisi bwe yamukwata ku by'okulumba amaka ga Mikisa yagitegeeza nti ye musuubuzi w'amatooke mu katale e Kibuye eby'obubbi yabivaamu dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...