TOP

Lwaki Museveni yasudde Nadduli ne Mukwaya

Added 17th December 2019

HAJJI Abdul Nadduli ne Janat Mukwaya be bamu ku bannansiko ababadde mu kabinenti ya Pulezidenti Museveni wabula mu nkyukakyuka ezaakoleddwa, bombi yabasudde.

 Nadduli ne Mukwaya abaasuuliddwa

Nadduli ne Mukwaya abaasuuliddwa

HAJJI Abdul Nadduli ne Janat
Mukwaya be bamu ku bannansiko
ababadde mu kabinenti ya
Pulezidenti Museveni wabula
mu nkyukakyuka ezaakoleddwa,
bombi yabasudde.
Abatunuulizi b'ebyobufuzi
bagamba nti, Nadduli ne Mukwaya,
amaanyi gabadde gabakeeye
nga tebakyasobola kukunga bantu
nga bwe babadde bakikola mu
kulonda okuzze kubeerawo okuva
lwe baava mu nsiko.
Luweero kye kimu ku bitundu
NRM mwe yali ewangulira waggulu
nga n'okulonda okusembyeyo,
ebifo by'ababaka ba palamenti
byonna NRM yabiwangula kyokka
olw'okugenda ng'anafuwa ate nga
talina kifo ky'akiikirira mu palamenti,
abatunuulizi bagamba nti,
y'emu ku nsonga eyasuuzizza Nadduli.
Nadduli yawummula ebyobufuzi
by'okuvuganya mu 2016
oluvannyuma lw'okuwangulwa
munna NRM munne gwe yali abbinkana
naye, Richard Ndawula,
mu kamyufu ka NRM okukwatira
ekibiina bendera ku kifo kya Ssentebe
wa Disitulikiti y'e Luweero.
Abatunuulizi era bagamba nti,
Janat Mukwaya, okumusuula
ku kifo kya minisita w'ekikula
ky'abantu n'abakozi kyavudde ku
kunafuwamu mu kukunga abantu.
Mukwaya y'omu ku babadde
abakunzi ba NRM ab'amaanyi mu
Buikwe n'e Mukono mu kulonda
okuzze kubeerawo emabega.
Mukwaya yali bbali w'emirimu
gya Gavumenti okuva nga May
27, 2011, lwe yawumuzibwa
okuva ku kifo kya minisita wa
guno na guli mu ofi isi ya Katikkiro
wa Uganda wabula mu 2016,
Pulezidenti n'amuzza. Mukwaya
okufaananako Nadduli, naye talina
kifo ky'akiikirira mu palamenti ya
Uganda ekibalabisa ng'abanafu
mu by'okukunga abantu.
MUSEVENI YABALINNYISIZZA
DDAALA - DR. KALIISA
Wabula Dr. AA Kaliisa omu ku batunuulizi
b'ebyobufuzi ayawukana
ku ngeri abalala gye balabamu ensonga
eno. Bwe twamutuukiridde
ku ssimu yagambye nti, Museveni
bano teyabasudde wabula yabalinnyisizza
bulinyisa ddaala.
Yagambye nti, Mukwaya abadde
tasobola kifo kya bwaminisita
kubanga alina bingi eby'okukola
ate nga minisita yeetaagibwa
mu palamenti ne mu bukiiko
n'agamba nti okumufuula omuwi
w'amagezi wa Museveni omukulu,
kyamuyambye nnyo.
Ne ku Nadduli yagambye nti,
okumuggya ku kifo kya minisita
wa guno na guli n'amufuula
omuwi w'amagezi, kyamutadde
ku ddaala lye limu ne Mukwaya
n'agamba nti we tugenda mu
kiseera eky'akalulu, Museveni
abantu bonna abeetaaga era
bagenda kumuyamba kinene mu
bifo mwe yabatadde. "Waliwo
abaana abato abayingira ekibiina
abo ba Nadduli, Mukwaya, Muloni
ne Azuba be balina okubayingiza
mu kibiina." Dr. Kaliisa bwe
yagambye.
Ku kya Nantaba yagambye
nti, Nantaba okumuggya ku kifo
kya minisita omubeezi owa ICT,
agenda kusoma era essaawa yonna
asobola okumuzza mu kabinenti
nga waliwo obwetaavu.
MULONI NE AZUBA
BABADDEKO AKABUUZA
Mu March omwaka guno nga
Gavumenti eteekateeka okuzzaawo
kkampuni ya Uganda
Airlines, palamenti katono ekwate
omuliro nga Minisita Azuba ne
ttiimu ye okuva mu Minisitule
y'eby'entambula n'emirimu batutteyo
okusaba baweebwe ssente
z'okugula ennyonyi.
Jonathan Odur akiikirira Erute
South yasaba amyuka Sipiika wa
palamenti, Jacob Oulanya alagire
Minisita Azuba akwatibwe oluvannyuma
lw'okuteekayo okwetonda
kwe ku nsobi ezaali zikoleddwa
mu mpapula ze baali batutte mu
palamenti nga zirimu ensobi.
Oulanya yava mu mbeera
n'ategeeza nti, ssinga yali Pulezidenti,
yandibadde aggalira ku
bantu abamu ate Barnabas Tinkasimiire
n'abavunaana okubeera
abafere. Abatunuulizi bagamba
nti Museveni yabadde tasobola
kumuleka mu kifo kwe kumusikiza
abadde omubeezi we, Gen. Katumba
Wamala.
Munne, Irene Muloni, naye ali
mu katuubagiro ke kamu okunnyonnyola
ssente obuwumbi 24
ezaali ez'okuzimba olutindo lwa
Isimba gye zaalaga. Sipiika wa
Palamenti, Rebecca Kadaga wiiki
eziyise, yatabuse n'asaba
Minisita Muloni okunnyonnyola
ssente zino gye
zaalaga.
Enkyukakyuka mu
kabinenti we zijjidde,
nga Pulezidenti Museveni
yakaggula olutalo
ku bali b'enguzi mu
ggwanga era abatunuulizi
bagamba nti, Muloni
ne Azuba okusuulibwa
kyandiba nga kyavudde
ku kukunyizibwa palamenti.
EBIZIBU BYA NANTABA
BYEYONGERA
OLW'OKUTTIBWA KWA
SSEBULIME
Okuttibwa kwa
Ronald Ssebulime
eyakubwa amasasi
ng'ateeberezebwa
okuba nga yali alondoola
Minisita Aida Nantaba,
kwayongera omunnyo
mu biwundu bya
Nantaba.
Okuva Ssebulime
lwe yattibwa mu March
w'omwaka guno,
Nantaba taddangamu
kufuna mirembe. Gye
buvuddeko, yagendako
e Canada okuwummulamu
kyokka ne bwe
yakomawo, embeera
teyatereera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...