TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ettu lya Ssekukkulu: Agenda mu kyalo okulya Ssekukkulu goberera bino oleme kubbibwa

Ettu lya Ssekukkulu: Agenda mu kyalo okulya Ssekukkulu goberera bino oleme kubbibwa

Added 18th December 2019

NG’EBULA mbale Ssekukkulu etuuke, Bannakampala abaagalaokugiriira mu byalo gye babazaala abamu baatandise dda okugenda mu byalo.

 Bano baabadde mu siteegi y’e Kiboga mu ppaaka empya.

Bano baabadde mu siteegi y’e Kiboga mu ppaaka empya.

Akeetalo mu kibuga wakati kaamaanyi ate bwe kwegattiddwaako enkyukakyuka ezikolebwa omuli okukyusa enguudo ne kiyitirira. Emmotoka ezimu zaakyusibwa okuva mu ppaaka empya n'enkadde nga kati ozisanga mu ppaaka mu Kisenyi oba mu Usafi.

Kino kikaluubiriza abasaabaze naddala abatatera kuyita mu kibuga era bangi beesanga nga babbiddwa olw'obuteekakasa wa gye bagenda okulinnyira emmotoka.

Rashid Ssekindi owa KOTSA nga y'akulira ebikwekweto bya siteegi z'emmotoka zonna wansi wa KOTSA mu Kampala akulaga engeri bannakibuga wamu n'abatambuze abakozesa takisi gye balina okwerindamu obutabbibwa naddala mu mnaku zino enkulu ng'omujjuzo guyitiridde mu kibuga.

1Ttakisi ezitikkira ku nguudo. Obulabe obuli ku mmotoka zino abasaabaze abazitabuliramu abamu babeera babbi nga bakozesa obukodyo ng'okutereeza oluggi naddala lw'omu maaso.

Abasaabaze abasinga naddala abo abatera okutuula mu maaso bamanyi okubategeeza nti "tereeza oluggi'' ng'eno bwe basokoola ssente, essimu n'ebintu ebirala omusaabaze by'aba atadde mu nsawo, naddala essimu ne ssente.

Kirungi bw'oba olinnya takisi, ogisange mu ppaaka kubanga eno kizibu okutikka ng;abagirimu babbi.

Ekirala, ebintu byo bwe biba bikubuzeeko mu takisi gy'olinnyidde mu ppaaka, kiba kyangu okubifuna kubanga bw'okomawo ku siteegi bamanya ddereeva eyakututte ne batandikira awo okunoonya.

2 Abeetissi b'emigugu. Oluvannyuma lw'okukyusakyusa mu byentambula mu Kompala, ebyentambula byongedde okukaluba. Omuntu yenna alina ebintu ebizitowa, ateekeddwa okufuna amusitulirako oba oweekigaali.

Wabula ababbi bangi beerimbika mu kusitula emigugu, era bw'otoba mwegendereza, akubulako n'omugugu gwo. Kirungi ofune omwetissi alina ettaawo n'ennamba y'ettaawo lye ogikwate mu mutwe. Kino kijja kukwanguyiza okumufuna ssinga abeera akubuzeeko kubanga otuukirira abamuvunaanyizibwako ne bamunoonya.

3 Abeefuula abalagirira abantu. Omuntu yenna aludde okujja mu Kampala bw'akituukamu ayinza okulowooza nti waali wakyamu olw'enkyukakyuka ezikoleddwa. Abafere wano we batandikira okubuzaabuza abatamanyi nga beefuula ababalagirira, okukkakkana nga bababbye. Noolwekyo bw'obeera mu paaka nga tomanyi mmotoka z'ogenda okulinnya we zisimba, buuza baggayidi abambadde amataawo, okusinga okubuuza buli gw'osanze.

4 Weewale abazannya zzaala. Bano mu Kampala baakazibwako erya ‘Ani akalengedde'. Mu biseera nga bino baba bangi. Ng'oggyeeko okwetaba mu muzannyo, n'okuyimirira we bali kyabulabe kubanga baba beetooloddwa babbi. Kyangu okukusala ensawo ng'otunuulira abazannya.

5 Weewale okwekukuutiriza awali akanyigo. Wadde akanyigo kangi olw'abantu abadda eno n'eri, manya nti abamu abatambula si baguzi era tebalina gye balaga, wabula baagala kubba. Noolwekyo bw'oba osobola weewale ebifo by'olaba nga mulimu abantu bangi, waakiri saliinkiriza ewala naye otuuke ng'ebibyo byonna obirina.

6Weegendereze ng'oggya ssente ku kyuma ne mobile money. Wano ababbi bangi we bateegera. Noolwekyo bw'oba oggyayo ssente wekkaanye okwewala okuzikubbako.

BY'OLINA OKUSOOKA OKUKOLA NGA TONNALINNYA TAKISI

lSsekindi yagambye nti, sooka okoppe ennamba ya takisi nga tonnagirinnya. Kino kikuyambako bw'obeera obbiddwa oba nga weerabiddemu omugugu gwo, kiba kyangu okugufuna.

lLinnya emmotoka esimbye ku siteegi eyo gy'olaga. Emmotoka endala ne bw'eba mu paaka naye nga tesimbye ku siteegi eyo gy'olaga, tekyandibadde kirungi kugirinnya.

lBw'obaako kye weekengedde mu mmotoka ekutwala, oli waddembe okulagira ddereeva okuyimirira n'ogivaamu.

lSsinga agaana okuyimirira osobola okuleekaana abanaakuwulira bajja kugigoberera bakutaase.

KCCA KY'EYOGERA KU BYENTABULA MU KISEERA KINO

Peter Kauju omwogezi wa KCCA yategeezezza nti tebakkiriza takisi kutikkira ku kkubo. Nga KCCA baateekawo dda ekiragiro ekiwaliriza takisi zonna okutikkira mu ppaaka ezaabagambibwa okwewala omugotteko mu kibuga.

"Abantu bonna abatambula okudda mu byalo balina okugumira enkyukakyuka nga bagenda mu ppaaka ezimanyiddwa okwewala okutaataaganyizibwa mu ntambula zaabwe kw'ossa n'okubbibwa ababbi nga bali mu makubo."

OMWOGEZI WA POLIISI ANNYONNYODDE

Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yategeezezza nti mu kaseera kano bali bulindaala naddala eri abo abamenyi b'amateeka nti baakubakwata mu buli kanyomero gye banaabeera beekukumye.

Agumizza abantu bonna abatambula mu kiseera kino nti babeere bagumu kubanga kyenkana buli wamu abapoliisi bagoberera buli ekigenda mu maaso era abasajja baabwe bali bulindaala nnyo.

Wabula yasabye abatwala kkampuni zonna ez'ebidduka okukolera awamu ne poliisi singa wabaawo gwe bateebereza okuba omumenyi w'amateeka mu ppaaka z'emmotoka ne ku nguudo nga basaabaza abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...