TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laba engeri gy'oyinza okkozesaamu amazzi ga ozone okulwanyisa obulwadde mu nkoko n'ekifu ku maaso

Laba engeri gy'oyinza okkozesaamu amazzi ga ozone okulwanyisa obulwadde mu nkoko n'ekifu ku maaso

Added 18th December 2019

Laba engeri gy'oyinza okkozesaamu amazzi ga ozone okulwanyisa obulwadde mu nkoko n'ekifu ku maaso

 Amazzi ga Ozone agakolebwa ku Prof Bo-research

Amazzi ga Ozone agakolebwa ku Prof Bo-research

BULI muntu yeetaaga omukka ogw'obulamu okusobola okubaawo ate tekikoma ku muntu yekka wabula n'ebisolo okwo gattako ebirala. Olw'obukulu bw'omukka guno, ky'ova owulira ng'abalwadde abayi bateereddwa ku byuma ebibayamba okubawa omukka ogw'okussa (Oxgyen) ne basobola okuwona era oluusi nabyo bitendewalirwa abamu ne bafa.

Ensi ng'enaasuumusibwa okugenda mu luse lw'ezo zikirimaanyi, ekimu ku bye batunuulira y'empewo gye bassa kw'ogatta ebyenfuna n'ebirala. Ekyokulabirako ekyangu, ensi ezaakula tezikkiriza kuyingiza mmotoka nkadde olw'okutya okuvaamu omukka omubi ne Uganda kyegezaako okukola bwe yalinnyisa omwaka gwa mmotoka ezirina okuyingira newankubadde nga wakyaliwo mmotoka nnyingi ezivaamu omukka guno.

Kino bakikola nga baagala okutereeza empewo bannansi bye bassa. Naye wano, olw'emmotoka enkadde, okutema emiti n'ebirala bivuddeko omutindo gw'omukka ogw'obulamu okukendeera.

KATI TUKOLE KI?

Mu bbanga waliwo olububi lwa ‘Oxgyen' olwekubisizzaamu emirundi esatu ne lukola akabubi ka ‘Ozone' nga kano katangira amaanyi g'omusana okutuuka ku nsi. Olw'emize emibi gye njogeddeko waggulu ng'okutema emiti, akabubi ako kakendedde.

Era akabubi kano kakulu eri ebirime byaffe kubanga ebire bwe bikwata enkuba n'etonnya ejja n'omukka ogwa ‘Ozone' ne guwa ebirime amaanyi ne bikula mangu okusinga ebyo ebifukirirwa.

Ky'ova owulira aboogera nti, enkuba erimu ‘nitrogen'. Bwe nakwatagana n'abakugu e Switzerland, nabasaba okunkolera ekyuma ekikola amazzi ga ‘Ozone' ekintu kye baakola era ekyuma nakifuna. W'osomera bino, ng'amazzi ago tugakolera mu kimu ku bibira wano era nga bw'oba onookola amazzi gano okeera ku makya ne kisobola okukenenula empewo ne kikolamu amazzi okuva mu maanyi g'ensi.

EMIGASO GY'AMAZZI GA OZONE

1 Malungi eri abantu abatalina maanyi, kuba empewo y'obu- Amazzi ga Ozone agakolebwa ku Prof Bo-research Emboozi z'omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof bioresearch lamu eri mu mazzi gano eyamba abantu okuddamu amaanyi kubanga omukka guno gwe gwokya emmere mu butoffaali omuntu n'asobola okufuna amaanyi.

2 Gakola ku bantu abalina asidi omungi mu mubiri okugeza abalina alusa, nga gayamba okwozaamu obutwa mu mubiri. Oteeka akajiiko mu mazzi amayonjo g'onywa ne galeetamu engeri y'olunnyo n'onywa.

3 Abalina kookolo gabayamba kubanga kookolo yeeyunira omubiri ogutaliimu mukka gwa bulamu, ssinga baganywa gayamba ku butoffaali okumulwanyisa.

4 Amazzi malungi ku bimera, osobola okuteeka ekijiiko mu liita emu ey'amazzi n'onnyikamu ensigo n'oluvannyuma n'osimba kijja kuyamba ebimera okukula amangu. Era osobola n'okugafuuyira.

5 Gayamba enkoko okufuna amaanyi ne zirwanyisa endwadde naddala eziva ku bucaafu ku mazzi agatera okuyiikayiika mu biyumba. Osobola okugawa n'ebisolo ebirala byonna. 6 Gayamba okugonza olususu, enviiri n'okuzikuza amangu. N'omuyimbi Michael Jackson yali akozesa amazzi obutakaddiwa n'okuziyiza kookolo olw'okuba yali afumbye olususu.

7 Alina olususu olukaddiye, binnamakula, embalabe gajja kuzigula olususu odde buto. 8 Osobola okugakozesa okuggyako ‘Makeup' ate gayamba okugonza olususu lw'abaana.

9 Omukyala osobola okuganaaba mu bitundu byekyama n'ogoba obucaafu kubanga ennaku zino abakazi bambala empale ezibakwata ne batafuna mukka gwa bulamu mu bitundu byabwe bino ekireeta obuwuka okweyagala ne bafuna yinfekisoni, wabula bw'okozesa amazzi gano gayamba okuteekayo omukka ogw'obulamu ne butakulumba. 10 Gaggyako ekifu ku maaso n'abalina ensenke nga wano ogatonnyeza ku maaso.

Era osobola okugawa omwana ayonka n'atafuna bulwadde olumu obuva ku bucaafu bw'amabeere ga nnyina.

11 Osobola okuganaaba ne gatta obuwuka, ekitegeeza osobola okugateeka mu kaabuyonjo n'ebifo ebirala eby'olukale.

12 Gayamba ku balwadde ba puleesa olw'okwoza obutwa mu mubiri omusaayi ne guba nga tegukwata. 13 Gongera abaserikale mu mubiri n'oba nga tolwalalwala, kiyamba ne ku bantu okugeza abalina akawuka ka siriimu.

14 Abatunda ebibala nammwe musobola okugatonnyeza ku bibala. 15 Gakkakkanya obwongo olw'omukka ogw'obulamu omuntu n'asobola okufuna otulo. Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch asangibwa ku Equatorial Mall edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...