TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. ekoze bajeti ya bukadde 1,160 okutuuza Bp. Kazimba

Gavt. ekoze bajeti ya bukadde 1,160 okutuuza Bp. Kazimba

Added 20th December 2019

NAMPALA wa Gavumenti Ruth Nankabirwa ategeezezza nti, gavumenti ekoze embalirira ya bbiriyoni emu n’obukadde 160 nga ze zigena okukozesebwa mu kutuuza Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen Kazimba Mugalu n’okusiibula Ssaabalabirizi Stanley Ntagali.

 Bp. Kazimba Ssaabalabirizi omulonde.

Bp. Kazimba Ssaabalabirizi omulonde.

Nankabirwa nga ye ssentebe w'akakiiko akategeka emikolo gino, yategeezezza bannamawulire ku kitebe ky'Obusaabalabirizi e Namirembe wakati mu kwetegekera okutuuza Ssaabalabirizi omuggya nga March 1, 2020 mu Lutikko e Namirembe.

Nankabirwa yagambye nti ssente zino zigenda kukozesebwa mu kusasula ebyuma, okulaga omukolo ku ntimbe, ggaggadde kuba abantu omutwalo ogumu abasuubirwa okubeera ku mukolo guno bonna tebajja kuyingira mu Lutikko.

Yagambye nti ebintu ebirala omuli; okugula mmotoka eneeweebwa Ssaabalabirizi omulonde, okuliisa abantu abanaaba ku mukolo, okupangisa emizindaalo, okusasula abagenda okuweereza mu bintu eby'enjawulo ku lunaku olwo, okuddaabiriza ennyumba ne ofiisi z'Obusaabalabirizi ssente zino ze zigenda okubikola.

"Wadde Pulezidenti Museveni ayinza okuba n'obuyambi bw'atuwa omuli n'okugula mmotoka, kino tekitunafuya kutuula butuuzi wabula tuli mu kulaba nti tufuna ssente zino olwo naye bw'anaaba atuwadde twongerezeeko naye nga tetumwesigamyeko mu nsonga ezimu." Nankabirwa bwe yayongeddeko.

Nankabirwa yayongedde n'ategeeza nti wateereddwaawo obukiiko obw'enjawulo obugenda okutambuza omukolo omuli akakiiko k'ebyobulamu ak'okulondoola abafunye obuzibu n'endwadde, akakiiko akagenda okukulemberamu emikolo gy'okutuuza, akakiiko akakola ku byentambula z'abagenyi abagenda okwetaba ku mukolo, akakiiko akavunanyizibwa ku kutambuza ebbaluwa mu ofiisi ez'enjawulo, akakiiko akavunaanyizibwa ku byensimbi, akakiiko akakulembera abagenda okuwereza n'okutendereza.

Akakiiko akavunaanyizibwa ku byokwerinda, akabunyisa amawulire n'ako akagenda okulondoola ebyokulya n'entuula y'abantu nga buno bwonna bukolera wansi w'akakiiko akakulu akaalondebwa Ssaabalabirizi Ntagali nga September 20, 2019 akakulirwa Nankabirwa ng'amyukibwa Gen. Katumba Wamala.

"Tusobodde okufuna ssente okuva mu bantu ab'enjawulo nga ne baminisita baasobodde okumpaayo obukadde 25 bwe nsuubira nti bugenda kukola eky'amaanyi mu nteekateeka z'emikolo gino.

Abantu abava ebweru omuli bannaddiini n'abantu abalala basoba mu 100 naye nga twakakakasaako abantu 50 abagenda okutweyungako ku lunaku lw'omukolo."

Nankabirwa bwe yayongeddeko. Kazimba waakutuzibwa nga March 1, 2020 mu Lutikko e Namirembe era ng'omugenyi omukulu agenda kuba Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...