TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebisale by'entambula eri abadda mu byalo bipaaziddwa

Ebisale by'entambula eri abadda mu byalo bipaaziddwa

Added 20th December 2019

OBUNGI bw’abantu abagenda mu byalo okulya ennaku enkulu buvuddeko ebisale by’entambula okulinnya ku nguudo ez’enjawulo.

Mu ppaaka za bbaasi ezimu okuli eya Namayiba , Global Coaches eya Kampala mukadde, Kisenyi Bus Terminal, Arua Park n'endala kati kikwetaagisa okulindako okumala akaseera okufuna bbaasi etikka .

Bannannyini bbaasi bagamba nti abantu abatambula beekubidde oludda lumu oluva e Kampala okudda mu byalo ng'abava mu byalo batono nnyo nga bbaasi bakomyawo nkalu kino ne kibawaliriza okulinnyisa ebisale okufuna ssente z'amafuta.

Jude Tumwine maneja wa bbaasi za Global yagambye nti ssente entonotono ze baayongeddemu zaakaseera katono ng'ebisale bigenda kuddayo nga bwe bibadde ku 20,000/- okuva mu Kampala okudda e Mbarara. Wabula nga kati omuntu ava e Kampala kimwetaagisa 30,000/- okugenda nga kino kitegeeza nti bayongeddemu 10,000/-.

Ye Jackson Wacibra maneja wa GAAGAA yagambye nti, ‘Wadde naffe abali mu mulimu guno kekaseera we tukolera ku kasente, essira tusinga kulissa ku byakwerinda n'obulamu bw'abasaabaze.

"Ekiseera kino tutwala obudde nga tukyetegekera era bbaasi zaffe zikoleddwa bulungi okuzisobozesa okutambula obulungi ssaako ne baddereeva nga bali bulindaala okusobola okutuusa abaasabaze gye bagenda mu mirembe," Wacibra bwe yagambye.

Ku ky'ebisale aba GAAGAA baayongezzaamu 5,000/- ku buli lugendo. Okuva mu Kampala okudda Lira awabadde ku 20,000/- kati 25,000/- n'ebitundu ebirala gye bakolera.

Mu ppaaka ya Namayiba awali bbaasi ezidda e Mbale , Soroti n'okweyongerayo kw'ossa ebitundu ebirala abantu abatambula baabadde bakyali batono era ng'ebisale tebinnalinnya kuva ku 20,000/-.

Nelson Ssekandi maneja wa ppaaka ya Namayiba yagambye nti wadde abantu abatambula olw'ennaku enkulu baba bangi, bakola kyonna ekisoboka okulaba nga babawa obukuumi nga bakyali mu ppaaka.

Yagambye nti ppaaka yonna omuli n'ebifo abasaabaze we batuula okulinda bbaasi byonna babyetoolozza kkamera ezirondoola buli muntu ky'akola okusobola okukwata abanyakuzi b'ensawo n'obumenyi bw'amateeka obulala.

Mu ppaaka za ttakisi ez'enjawulo omuli empya, enkadde, eya Namayiba ne mu Kisenyi wadde ng'ebisale bibadde tebinnakaalaama, abasaabaze bakwatiridde 

kumpi ku buli siteegi.

ABATTAKISI KYE BAGAMBA

Robert Ssekitooleko amyuka ssentebe wa ppaaka empya yalabudde abasaabaze okwongera okuba abeegendereza naddala ku baana n'ebintu bye batambula nabyo.

Yawadde abasaabaze amagezi obutalinnya ttakisi nga tebagikoppolodde nnamba okusobola okugirondoola ssinga obaako ebintu bye weerabiddemu oba obuzibu obulala.

ABASAABAZE MUGOBERERE BINO

Ssekitooleko yalabudde abasaabaze okwewala okulinnya ttakisi ezitikkira wabweru wa ppaaka ne ku nguudo ez'enjawulo mu Kampala kubanga ezimu za bamenyi ba mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...