TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni adduukiridde abalimi e Lwengo

Pulezidenti Museveni adduukiridde abalimi e Lwengo

Added 21st December 2019

Pulezidenti Museveni adduukiridde abalimi e Lwengo

Bya Florence Tumupende

PULEZIDENTI Museveni aduukiridde abalimi ab'egattira mu kibiina kya Makondo co-operative Farmers ne Kyazanga Intergrated Farmers bwabawadde tulakitabbiri ezirima zibayambeko mu by'obulimi kisobozese okutumbula ku nnyingiza y'amaka.

RDC Jjuuko Kasiita ne ssentebe wa lwengo George Mutabaazi basinzidde mu ku kwasa abalimi bano tulakita ne balabula bannabyabufuzi abagenda betuuma ebintu bya Gavumenti era ne basaba abalimi bano obutawudiisibwa abantu abao nti emmotoka zino be bazisaka oba bebazireese.

Rdc Kasiita akuutidde abalimi obutageza kulekerera mmotoka zino singa ziba ziriko ekizibu ekizituuseeko bakwasizeeko disitulikiti nga bazidaabiriza nabawa eky'okulabirako kubalimi abaze mu lukiio oba waliwo atalumizibwa nnyonta nga n'olwekyo emmotoka zino zitekebwamu amafuta,zinywa amazzi,ate zijjanjabibwa.

Mungeri y'emu akuutidde badereeva abagenda okuvuga emmotoka zino obutageza ku zigugira ku nguudo kalube lwa ttaka yadde lwa kolaasi kuba kikontana n'amateeka nga zino zakuteekebwanga ku bimotoka ebyettisi olw'okutangira amannyo agazitekebwako obutagenda nga gawommoggola enguudo zino.

Takomye kwekyo asabye abalimi okumulopera singa emmotoka zino zikola mu malimiro amalala nga tegamanyiddwa mu bibiina bino okumutegeezangako ng'abantu abalemwa okuyingira ebibiina by'obulimi ate nebesanga nga betaaga tulakita zino balina kuyita mu wofiisi ye abalage omugaso gw'ebibiina kyeguli.

Bo abalimi basiimye ettu eribawereddwa pulezidenti Museveni nebeyama okwongera omutindo gw'ebyobulimi wabula ne basaba ku bbeeyi yakatale k'ebyobulimi okwongezebwa basobole okwekulakulanya mu maka gabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...