TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Moses Kalungi afunye Diguli y'amteeka n'asomooza bagagga banne

Omugagga Moses Kalungi afunye Diguli y'amteeka n'asomooza bagagga banne

Added 22nd December 2019

Omugagga Moses Kalungi afunye Diguli y'amteeka n'asomooza bagagga banne

 Omugagga Moses Kalungi Billgates ng'ali ku kabaga ke akokwekulisa okusoma amateeka

Omugagga Moses Kalungi Billgates ng'ali ku kabaga ke akokwekulisa okusoma amateeka

OMUGAGGA Moses alaze essanyu oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo gye egy'amateeka ku Yunivasite ya UCU e Mukono.

Omugagga Kalungi yagambye nti wadde mugagga naye yasalawo naddayo n'asoma amateeka. "Nga nkyali muto n'asooka kufuna diguli yange mu by'ekikula ky'abantu e Makerere wabula bwemaze okugaggawala ne nsalawo nzireeyo nkole ne diguli enddala mu mateeka" bwatyo Kalungi bweyategeezezza.

Kati mu kiseera kino omugagga Kalungi munnateeka omujjuvu oluvannyuma lw'okusoma diguli y'amateeka ssaako ku UCU ne Diplama ku LDC emuwa olukusa okugenda mu kkooti okuwoza emisango.

Kalungi yakoze akabaga ako'okwekulisa okusoma akaabadde ku e Lugogo era nga Rema Namakula yabaddewo nnyo n'omwami we Hamza okusanyusa abantu. 

Rema olwayingiddewo yategeezezza nti yali yakoowa ennaku y'abassemyekozo awo weyakwatidde omwami we Dr Hamza n'amulaga abantu n'ategeeza nti ebyo bye bimu ku by'amwagaza Hamza olw'ensonga nti buli wamwagalira abaawo ekintu ecacamudde ennyo abantu olwo enduulu n'evuga.

Mu balala abaabaddewo kwabaddeko eyali amyika ssaabalamuzi wa Uganda Steven Kavuma, Charles Kakumba owa Kakumba Motors, William Kajoba, Kamoga Muhammad n'abalala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...