TOP

Muhammad Kamoga alaze essape lya Love ku buko

Added 23rd December 2019

Muhammad Kamoga alaze essape lya Love ku buko

 Hajji Muhammad kamoga ne Mukyala we ku mukolo gw'amatikkira g'omugagga Kalungi Moses

Hajji Muhammad kamoga ne Mukyala we ku mukolo gw'amatikkira g'omugagga Kalungi Moses

HAJJI Muhammad Kamoga yalaze mukyala we eki-love -love ku buko bwe baabadde bayitiddwa ku mukolo gw'omugagga Moses Kalungi ogw'amatikkira.

Omugagga Kalungi yafunye diguli mu mateeka okuva ku university ye Mukono ssaako ne Diploma okuva ku LDC emukkiriza okugenda mu kkooti era nga kati mu kiseera kino munnamateeka omutendeke.

 Abamu ku bagenyi abaayitiddwa mwe mwabadde ne Hajji Muhammad Kamoga owa Kamoga and Property Consultants eyazze en Mukyala we.

Kamoga eno yabadde ayitiddwa ku buko gye bamuzaalira omukyala wabula yasizza abantu enseko bwe yatuuse ku layini y'emmere n'agabula mukyala we mu kifo kya mukyala we okumugabula.

Ono olwatuuse ku layini y'emmere n'akwata ekijiiko n'atandika okubuuza mukyala we nti ogenda kulya naki omukyala n'abimusongerako bw'atyo n'atandika okubisena nga bwagabula omukyala ekyawadde abakyala abaabaddew akamwenyumwenyu ne batandika okwebuuza nti abasajja bwe bati bulijjo bakyaliyo era beekweka wa eyo awatatuukika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...