TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laba ekibadde e Kololo nga UPDF ewandiika abaagala okyingira amagye

Laba ekibadde e Kololo nga UPDF ewandiika abaagala okyingira amagye

Added 27th December 2019

Laba ekibadde e Kololo nga UPDF ewandiika abaagala okyingira amagye

OBUNGI bw'abantu abeeyiye ku kisaawe e Kololo mu kuwandiika abajaasi abapya mu ggye lya UPDF gutabudde abali ku mulimu guno abamu ne babagoba olw'ebisanyizo.

 

UPDF, yetaaga abajaasi abapya 4,000 era okuwandiika kuno kutandikidde mu Kampala olwaleero ku kisaawe e Kololo kyokka, obungi bw'abaagala okuyingira amagye mu Kampala mwokka katono bwenkane obungi bw'abantu abeetaagibwa mu ggwanga lyonna.

Amyuka omwogezi wa UPDF, Lt. Col. Deo Akiiki Asiimwe mu kiwandiiko kye yawerezza bannamawulire yagambye nti, bagenda kuwandiika okwetoolola eggwanga okuva nga December 27, 2019 okutuuka nga January 5, 2020.

Annyonnyodde nti mu bantu be betaaga mulimu abagenda okwegatta ku UPDF ng'abalwanyi era bano bateekeddwa okuba nga baatuula S4 oba S6 obutakka wansi wa 2016 ate nga baakola amasomo ga saayansi nga bali wakati w'emyaka 18 ne 25 nga balina ddensite z'amasomero gye baatuulira n'ebbaluwa za UNEB.

Abalala abagenda okukola mu bitongole eby'ekikugu mu magye bateekeddwa okubeera ne ddiguli oba dipuloma mu kutabula eddagala, okukanika, abasomesa, abaasoma eby'emikono, abaasoma eby'obulimi, bannamawulire, abaasoma ebya kkompyuta n'ebirala nga bali wakati w'emyaka 18 ne 30.

Agaseeko nti, bateekeddwa okubeera Bannayuganda nga balina ddensite za Uganda, era bateekeddwa okuba nga tebalina birwadde byonna ng'ate beetegefu okukeberebwa.

Bateekeddwa okuba nga si bafumbo era nga tebalina baana, bateekeddwa okubeera ab'empisa nga tebalina musango gwonna nga balina n'ebbaluwa ezibasemba okuva ku LC I, LC II n'ewa GISO.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...

Minisita w'Ebyensimbi Kasaija ne Byarugaba akulira NSSF nga boogera

Bannayuganda muve mu kwejal...

MINISITA w'ebyensimbi Matia Kasaija alabudde Bannayuganda bave mu kwejalabya batereke ssente ezisobola okubayamba...

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...