
Kusasira nga tannaba kulinnya ku siteegi kukooka.
Okwandibadde okumwanukula n'emizira n'enduulu, abadigize baatandise kumuwereekereza bisongovu nga bwe baaleekaanira waggulu nti, "vvaayo…., vvaayo… vvaayo…." ate abalala nga bwe baleekaana "Twakoowa…Twakoowa….."
Ekyaddiridde kwabadde kumukasukira mayinja n'obucupa era abaserikale abamukuuma nga bali wamu n'abajaasi abaavudde mu nkambi y'e Kasijjagirwa be baayambye okukuba ekkubo Kusasira we yayise nga bamuggya ku siteegi aleme kugajambulwa badigize.
Maneja we yasoose kugezaako kutangira obucupa obumu okutuusa lwe kyamususseeko, abaserikale ne bayingirawo okutaasa omuyimbi wa Golden Band eyakazibwa erya ‘Maama Kabina'.
Olwo abadigize baabadde banenya Kusasira okuvumirira ‘People Power' ekulemberwa muyimbi munne Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, n'awagira Pulezidenti Museveni avuganye ku Bwapulezidenti mu 2021.

AMASASI GAVUZE NGA BATAASA KUSASIRA
Wakati mu mayinja n'obucupa abadigize bye baabadde bakasukira Kusasira, abakuumi be embeera yabasusseeko.
Ekyayambye kwe kuba nga Herman Kasozi nannyini kifo kya Nabugabo Sand Beach mu Buddu awaabadde ekivvulu, yabadde akolaganye n'abaserikale b'enkambi y'e Kasijjagirwa mu Masaka ne bamuwa abajaasi era bano be baayingiddewo, ng'embeera ebizze.
Baakubye amasasi asatu mu bbanga, olwo abadigize abaabadde bava ku ludda lwa ‘Kirussia' nga bagezaako okulumba Kusasira ku siteegi, ne babuna emiwabo.
Abaserikale baakubye ekkubo ne bakola layini bbiri oludda n'oludda, olwo Kusasira ne bamuyisa wakati, ng'emabega awerekerwa abakuumi be, be yabadde avudde nabo e Kampala.
Baamuwerekedde okumutuusa ku mmotoka ye Land Cruiser V8 enzirugavu eyamuweebwa Pulezidenti, n'alinnya era ne bamuvuga kafuufu okumuggya mu kifo ekyabadde kicankalanye.

BAASOOSE KUGOBA FULL FIGURE
Abamu ku baabaddewo baagambye nti embeera eyatuuse ku Kusasira yandibadde yagyekengedde n'atatawaana kwetantala badigize kubanga baabadde baakamala okugoba muyimbi munne Jennifer Nakanguubi amanyiddwa nga Full Figure - nga ono yali muwagizi wa Bobi Wine wabula n'asala eddiiro n'adda ewa Pulezidenti Museveni ne bamuwa n'emmotoka empya wamu n'ensimbi.
Full Figure yalinnye ku siteegi ku ssaawa 8:00 ez'emisana era abadigize ne bamuleekaanira abaviire nga bwe bamukuba amayinja n'obucupa era teyayimbyeyo wadde ‘sitanza' emu bw'eti n'aweta n'alinnya emmotoka ye n'avuga n'adda e Kampala.
Kusasira yatuuse ku ssaawa 9:00 era tekyategeerekese oba yazze ategedde ebyabadde bituuse ku munne Full Figure.
Okwawukanako n'ebivvulu Kusasira by'abadde atera okuyimbiramu ng'ayambadde ebya kyenvu (langi y'ekibiina kya NRM), ku luno yabadde mu biddugavu ng'ataddeko ne "bbulawuzi" enjeru, wabula era abadigize babitaddemu ebyobufuzi ne bamutabukira.
Abategesi n'abeebyokwerinda baavumiridde effujjo eryakoleddwa ku Kusasira ne Full Figure nga bagamba nti tebaayitiddwa nga bannabyabufuzi wabula bazze ng'abayimbi abazze basanyusa abadigize mu kifo ekyo kumpi mu buli kivvulu ekibaayo buli nga December 26, ku ‘Boxing Day'.
Baagasseeko nti n'ennyimba ze baabadde balina okuyimba temuli za byabufuzi, kyokka abacakaze tebaabalinze na kumanya bye bagenda kuyimba.
