TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kusasira azzizza omuliro ku by'okumukuba obucupa

Kusasira azzizza omuliro ku by'okumukuba obucupa

Added 28th December 2019

Kusasira ng’ayogera ne Bukedde ku makya g’Olwokutaano yagambye nti abaamukubye tebamanyi byabufuzi na nsonga za bukulembeze bwe zitambula.

Yannyonnyodde nti bannabyabufuzi abamu beefuula abaagala enkyukakyuka nga beekwasa nti tebafugiddwa bulungi ng'ate ebikolwa byabwe tebiwa kyakulabirako kya nkyukakyuka ya mirembe gye boogerako, eteeka ekitiibwa mu ddembe ly'abalala.

Yagambye nti ekyo kiba kitegeeza nti enkyukakyuka gye baagala eruubirira kumalako bantu balala ddembe lyabwe; n'akkaatiriza nti, "Omuntu atasobola kugumiikiKusasira 

riza munne bwe baawukana mu ndowooza z'ebyobufuzi n'atuuka n'okumukuba, agamba atya nti anaasobola obukulembeze!".

Yagambye nti ateebereza nti abaamukubye beebo abeeyita ab'ekisinde kya People Power ekikulemberwa Bobi Wine.

Nga tannayogera ne Bukedde, Kusasira yasoose kuteeka kiwandiiko ku mukutu gwe ogwa ‘Facebook' ng'ayanukula kw'ebyo ebyamutuuseeko e Nabugabo ku Lwokuna wansi w'omutwe ogugamba nti, ‘You can not take away freedom to protect it….' Ekivvuunulwa nti, "Toyinza kusaanyaawo ddembe ng'ate ly'ogamba nti ly'olwanirira…." era n'annyonnyoola nti anoonya eddembe tasooka kusaanyaawo ddembe lya balala.

Yalambuludde nti: Tosobola kusooka kwonoona katale ate k'ogamba nti k'olwanirira, oba okwagala okulwanirira eddembe ly'okweyogerera naye ng'soose kugaana balala kwogera na ddala abo be mutakkaanya nabo mu ndowooza. Yagasseeko nti, "Okuggyako abalala eddembe lyabwe nga mwefuula abalwanirira eddembe ly'abantu kiba kya bunnanfuusi. Nze nkyali mugumu kakobogo, ebyabaddewo tebintiisa."

Kusasira nga tannasalawo kukulemberamu okusaggulira Museveni obululu naddala mu Ghetto za Kampala n'emiriraano, yayimbirako Bobi Wine mu kampeyini ze yalimu ku kifo kya Kyaddondo East kye yawangula mu 2017.

Oluvannyuma yagamba nti abawagizi ba Bobi be baamusalirako e Kasangati ne bamukaka okubayimbira balyoke bamukkirize ayitewo bwe yali ava okunoonyeza eyali yeesimbyewo ku kkaadi ya NRM, Sitenda Sebalu akalulu.

Kusasira y'omu ku bayimbi abaali mikwano gya Bobi Wine nga bombi tebannayingira byabufuzi, wabula enjawukana z'ebyobufuzi zivuddeko abawagizi ba Bobi Wine okumutabukira.

Omuze gw'okukuba abayimbi obucupa olw'ensonga z'ebyobufuzi guzze gukula era omwaka oguwedde, abacakaze baakuba Moses Ssali amanyiddwa nga Bebe Cool obucupa ne bamuggya ku siteegi nga teyeesiimidde bwe yali mu kivvulu e Lugogo nga bamulanga okuwagira Pulezidenti Museveni.

Mu kiseera ekyo waaliwo obunkenke, nga Bobi Wine yaakamala okukwatibwa mu kavuyo akaali mu Arua akaavaako okuttibwa kwa ddereeva Yasin Kawuma gwe baakubira amasai mu mmotoka ya Bobi Wine era Bobi Wine naye yali ajjanjabwa olw'ebisago bye yafuna wabula Bebe Cool ng'agamba nti baamukuba naye agezaako okulwanyisa abaserikale nti era ne mu bimu yali asavuwaza ng'agezaako okulaga ensi nti yakubibwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...

Isma ayogedde ku bulwadde b...

Isma ayogedde ku bulwadde obuluma Sheikh Muzaata,  Loodi meeya Lukwago n'ebyobufuzi ebyenjawulo mu ggwanga.

Bobi Wine nga yaakatuuka e Buliisa.

Bobi alaze bw'agenda okugab...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu ' ‘Bobi Wine' asuubizza ab'e Bunyoro nti ng'afuuse Pulezidenti wa Uganda, abantu abagobeddwa...

Bannakibiina kya FDC abakulemeddwaamu Amuriat (ddyo), Birigwa, Nandala n’abalala nga bakwasa Atuha ebirabo.

Amuriat asuubizza ab'e Buny...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku bwa Pulezidenti asisinkanye abakungu mu bwakabaka bwa...