TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amazzi gasazeeko kkampuni ya bisikwiti e Matugga

Amazzi gasazeeko kkampuni ya bisikwiti e Matugga

Added 28th December 2019

ENKUBA eyatonnye mu kiro ekyakeesezza Olwokuna yalese eyonoonye kkampuni ekola bisikwiti e Matugga ssaako n’ebintu by’abatuuze.

 Ebizimbe bya kkampuni ya EVERY DAY n’emmotoka nga bibulidde mu mazzi. Mu katono, Wano Poliisi ng’etaasa abakozi n’abamu ku bakulira kkampuni ya Everyda

Ebizimbe bya kkampuni ya EVERY DAY n’emmotoka nga bibulidde mu mazzi. Mu katono, Wano Poliisi ng’etaasa abakozi n’abamu ku bakulira kkampuni ya Everyda

Ate ebintu okuli ebimuli by'abasuubuzi abakolera ku kkubo ly'e Bombo naddala mu bitundu okuli Kawanda ne Matugga byonna byayingiddemu amazzi ne gabyonoona.

Enkuba eno yatonnyedde kumpi essaawa ttaano nga yagenze okukya ng'ebintu ebiri mu bukadde bw'ensimbi ebya kkampuni ya EveryDay ekola bisikwiti bisaanyeewo olw'amazzi okwanjaala ne gayingira munda mu kkolero.

Ebyuma okuli ebikola bisikwiti, emmotoka, ssente enkalu, ssaako emmaali gye baabadde baakamaliriza byonna byaweddewo ebirala amazzi ne gabitwala.

Abaserikale ab'obwannannyini okuva mu kkampuni ya Securex abakuuma kkampuni eno emmundu zaabwe amazzi gaabadde gazitutte wabula baazinoonyezza okutuusa bwe baazirabye.

Wabula abakozi mu kkampuni eno baasobeddwa amazzi bwe gaabasazeeko ne babulwa ekkubo erifuluma wabweru nga n'Abayindi abagikulira amazzi gaabalemesezza okufuluma.

Poliisi y'abazimyamwoto yatuuse ne batandika okubasomba nga bwe balinnya ekikomera waggulu okutuuka bonna bwe baafulumye wabweru.

Abatuuze mu kitundu kino baakitadde ku kitongole kya NEMA ekyakkiriza ba yinvesita okuzimba mu kkubo ly'emyala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...